Bya Ssemakula John
Kampala
Omupoliisi ACP Siraje Bakaleke eyali addukidde mu buwang’anguse okumala emyaka 5 nga atya okukwatibwa oluvannyuma lw’okuggulwako emisango egiwerako,yakwatiddwa Poliisi naweerezebwa ku kitebe kya bambega n’oluvannyuma nayimbulwa.
Bino bikakasiddwa omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga bw’abadde ayogerako ne bannamawulire.
“Kituufu oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, yereese ku kitebe kya poliisi e Naguru nasindikibwa ku kitebe ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) gyeyakoledde Sitatimenti ku by’okudduka mu poliisi. Ono yakwatiddwa okumala essaawa eziwerako n’oluvannyuma nayimbulwa ku kakalu ka poliisi era kwali,” Enanga bw’ategeezezza bannamawulire ku Mmande.
Afande Bakaleke yeyali adduumira amaserengeta ga Kampala n’emirilaano naye nabula mu mwaka 2018 oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okukozesa obubi woofiisi, okuwamba abantu wamu n’okwekobaana okubaako gwafera.
Emisango gino gyava ku bigambibwa nti baliko banansi ba South Korea bebakwata nebabbako ssente eziri mu buwumbi.
Ebiwandiiko ebiri mu maaso ga Kkooti gala nti abakorea okuli Park Seunghoon ne Jang Shingu Un aba kampuni ya Mckineley Resource Company Limited baali bagenda kusisinkana abasuubuzi ba zaabu mu Kampala naye Bakaleke nabakwata nabateeka ku mudumu gwe mmundu nabaggyako emitwalo gya ddoola 41 era nazitwala.
Ono yali avunaanibwa wamu ne munnamateeka Paul Mugoya Wanyoto, Samuel Nabeta Mulowooza, D/ASP Innocent Nuwagaba, D/ASP Robert Ray Asiimwe, PC Junior Amanya, PC Gastavas Babu ne PC Kenneth Zirintusa.
Wano kkooti yamuyisaako ekibaluwa kibakuntumye era nesaba poliisi emukwate wonna wemusanga.
Poliisi yategeeza basajja baayo bonna okunoonya Bakaleke nababula era nebamusaba adde ku mulimu kuba yali tayogedde nga avaawo oluvannyuma bamulangirira ng’ eyali adduse ku mulimu nawang’anguka.
Mu 2019, oludda oluwaabi lwajja enta mu by’okuvunaana Bakaleke awamu ne banne nebategeeza nti gino baali bakugittukiza nga bamukutte.