
Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’oluganda lw’omuwagizi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Swabrah Owomukisa ng’ono yakulira abawagizi b’ekibiina kino ku mutimbagano balaze okutya olw’obulamu bw”omuntu wabwe gwebagamba nti tebamanyi mbeera mwebali.
Kigambibwa nti Owomukisa yawambibwa okuva mu maka g’abazadde be e Busega ku Lwokubiri lwa wiiki eno naye n’okutuuka essaawa ya leero bakyalemeddwa okumanya gy’ali.
Ab’enganda bagamba nti omuntu wabwe yawambibwa okuva ewaka w’abazadde be era nga abamutwala baamukubira ssimu nga bamutegeza nga bwebalina ebirabo byebali bamuleetedde kyokka okuva olwo talabikako.
Muganda wa Owomukisa agamba nti olunaku nnyabwe lweyafuna amawulire g’okuwambibwa kwa muwala we yazirika era n’okutuusa kati embeera ye tenatereera.
Ye Munnamateeka w’ekibiina ki NUP, Saasi Marvin agambye nti batuuse mu buli kifo kyebasuubira Owomukisa okubaamu omuli poliisi e Nateete, ku CMI , CPS mu kampala nebifo ebirala naye yonna taliiyo.
Ku nsonga eno, Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Patrick Onyango ategeezezza nti Omuntu ayogerwako tebamulina wadde ab’oluganda balumiriza Poliisi okumanya gy’ali.
Omwogezi w’ekibiina ki NUP, Alex Waiswa Mufumbiro agambye nti bakukola ekisoboka kyonna mu mateeka okuteeka gavumenti ku nninga ebawe omuntu wabwe.