Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku lulimi Oluganda, obuwangwa n’ennono, Owek. David Kyewalabye Male asabye bannalulimi Oluganda okwegatta basobole okulutaasa okusaanawo, abo abaliddawo basobole okulusanga.
Bino Owek. Male yabyogeredde mu nsisinkano n’abakwatibwa olulimi Oluganda e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri okutema empenda ku ngeri gye basobola okulukulaakulanya.
“Twagala tugatte abantu babiri; abakugu n’abamanyi. Be tuyita abakugu beebo abasomye ng’okusoma kwe kuli mu lulimi era nga n’ebbaluwa basobola okugiraga mu bantu kubanga wabeerawo oludda olugamba nti abo tebalina kwetaba mu lulimi.” Minisita Kyewalabye bwe yagambye.
Minisita Kyewalabye ategeezezza nti waliwo omuze gw’okwevunaana mu bakwatibwako olulimi Oluganda nga beekwata ensobi, wabula kati Minisitule eno erowooza nti walina okubaawo olutindo olubataba bakolere wamu.
Minisita Kyewalabye agamba nti abantu bangi baliko ettoffaali lye batadde ku lulimi Oluganda era nga lusaana okukuumibwa okusinziira ku maanyi agateekeddwamu ebitongole ng’ekibiina ky’olulimi Oluganda, abaweereza ku mpewo n’empapula z’amawulire n’ebirala.
Owek. Male yannyonnyodde nga bwewaliwo ekizibu ky’okuba nti Oluganda lwe lumu ku nnimi ezaasinze okukolebwa obubi mu bibuuzo bya Ssekendule ebiwedde ne Pulayimale, nga kati basaanye okumanya ekizibu we kiri era bakkaanye ku kiki kye baagala ng’abavunaanyizibwa ku lulimi okusaasaana oba okulufunamu abakugu.
“Ffenna bwe tunaabeera nga buli muntu alina gw’awakanya, olwo asoma agenda kubeera atya? Noolwekyo twagala tukkaanye kuba olulimi kikulu gye tuli.” Owek. Kyewalabye bwe yagasseeko.
Ono yasabye bonna abakwatibwako olulimi Oluganda okumanya nti olulimi lukula era n’agattako nti luno lulina okwegenderezebwa obutayonoonebwa era y’ensonga lwaki basazeewo okufuna enteekateeka eyaawamu basobole okwetereeza.
“Tugamba ng’Obwakabaka bwa Buganda nti, olulimi kyabugagga kyaffe era buli akwatibwako tulina okumubeerako n’obuyinza kuba asobola okuba nga tagenda kuzimba wabula okuzimbulula. Kati njogedde ku bigambo by’oluyaaye naye kati muli ebiyinza okuyitirira nga bisasamaza.” Owek. Kyewalabye bwe yagasseeko.
Bannalulimi bakkaanyizza okusooka okutambulira awamu awatali kweraga lyanyi na buyinza kuba enjawulo mu bigambo ebiwerako teri mu Luganda lwokka naye n’Olungereza era nga kijja kukola amakulu nga bali wamu.
Okusinziira ku Minisita Kyewalabye, bakkaanyizza okufuna olukiiko oba bboodi okugenda okutuula abakiise ab’enjawulo ng’ekibagasse si kweraga maanyi naye okuwuliziganya nga abakwatibwako ensonga eno nga batunuulira olulimi kye ki awamu n’ebigendererwa byalwo.
Mu birala ebyasaliddwawo mu lukiiko luno, kwe kulaba engeri olulimi Oluganda gye luva mu nkola eya ‘Analogy’ okudda mu Digito ng’eno yeemu ku ngeri gye lusobola okukuumibwa nga luyambibwako Tekinologiya, kiyambe abaliddawo okulusanga.
Olukiiko era lwasembye ekiteeso kya Kojja Ssali Damascus okuteekawo embeera ekung’aanya bannalulimi wonna we babeera bali, emirimu gisobole okutambula obulungi.
Ate ye Owek. Rashid Lukwago yasabye wategekebwengawo Ttabamiruka w’olulimi Oluganda atambulira ku miramwa egy’enjawulo okusobola okwongera okukulaakulanya olulimi luno era bajulize n’ebyo ebyasooka okusobola okutambula obulungi.
Ensisinkano eno yeetabiddwako Owek. Masagazi Masaazi n’abakugu abalala okuva matendekero ag’enjawulo okuli; Makerere Yunivaasite, Kyambogo Yunivaasite, ab’ekibiina ky’olulimi Oluganda, emikutu gy’empuliziganya, abasomesa awamu n’abantu ssekinnoomu abakwatibwako olulimi Oluganda.