Bya Ssemakula John
Mbale
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nga y’alina bbendera ya NRM okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, agamba nti ab’oludda oluvaganya tebalina kye bagamba nsi okuggyako okuleekana.

Bino Museveni yabyogeredde ku ssomero lya Mbale SS bwe yabadde asisinkanye abakulembeze b’abavubuka mu kaweefube gw’aliko ow’okunoonya akalulu akamusigaza mu ntebe.
“Tewali opozisoni mu Uganda gye sisobola kuwangula kubanga ebintu babiraba bulala, kati bawakanya ki, tebalina nsonga ya mulamwa gye beekutteko. Tebalina kintu kyonna kye baali bakoledde bannansi ku nsonga enkulu.” Museveni bwe yagambye.
Museveni bano yababuulidde enteekateeka ez’enjawulo gavumenti ye ze yali ereese okuyamba bannansi naye abavuganya gavumenti ye ne baziremesa okukola nga muno mulimu amaka g’obwapulezidenti okusasulira abaana babalwanyi abaafiira mu lutalo lwe Luweero fiizi.
Ono yagumizza abavubuka bano obutatya bantu ba ludda luvuganya kubanga tebakyalina nsonga yonna gye basobola kusinziirako ng’ebizibu byonna ebisinga NRM ebikozeeko.
“Ndowooza mulina okwogera n’abantu bano. Kati bawakanya ki? Bwe baba boogera ku nsonga ng’enguzi nakyo mulina okubannyonnyola nti tukikolako. Siraba kibiina kyonna ekirina mbavu okuwangula NRM,” Museveni bwa balambise abavubuka.
Museveni yasabye abakulembeze b’ekibiina okwogereza ab’oludda oluvuganya babalage ebikulu NRM by’ekoze mu myaka 34 kuba wano bajja kukyuka batandike okuwagira NRM.
Mu kalulu kano Museveni avuganya n’abalala 10 ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021 woofiisi gy’abaddemu okumala emyaka 34.
Museveni yasinzidde wano n’avumirira bannabyabufuzi abalemedde ku kukuba enkung’aana z’abantu abangi, ekintu ekiteeka abantu bano mu katyabaga k’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.








