Bya Ssemakula John
Kampala
Abamu ku basuubuzi abakolera ewa Kisekka batabukidde gavumenti lwa kwagala kweddiza katale kaabwe, nga tesoose kuliyirira abo abaali baafuna ku ttaka lino Liizi.
Abasuubuzi bano bagamba nti gavumenti erina okusooka okubaliyirira bw’eba eyagala bave ku ttaka lino, ekintu gavumenti ky’eyagaanye ng’egamba nti balina kusooka kuwaayo katale kano olwo ne balyoka babaliyirira be balina okuliyirira, era bano balemeddwa okukkaanya.
Abasuubuzi abawera 1858 beegatta ne bakola ekibiina kya Nakivubo Road Old Kampala (Kisekka) Market Vendors Ltd, ne bafuna Liizi ku ttaka lino era ng’eno eggwaako mu July wa 2021.
Bano basisinkanye Minisita wa Kampala, Betty Amongi n’abakungu okuva mu kitongole kya KCCA, wabula abasuubuzi ne beelema okuva ku ttaka lino nga tebasasuddwa.
Minisita Amongi yategeezezza olukiiko nti, “Lino ettaka lya gavumenti, saagala mugende nga mugamba nti ttaka lyammwe. Mbawa amagezi temugezaako kutiisatiisa gavumenti.”
Minisita n’abakungu ba KCCA baabadde bagenze okuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti ekiragiro ekitongole kya KCCA okweddiza obutale bwonna mu Kampala 16, obwa gavumenti era abasuubuzi beerondemu obukulembeze obuggya.
Ebbaluwa ya Pulezidenti eyawandiikiddwa nga 25 September 2020, yalaze ng’ebibiina by’abamu ku basuubuzi bwe byawamba obutale buno ne bitandika okunyunyunta n’okutulugunya abasuubuzi nga bibasaba ssente ezitali mu mateeka.
Amongi yannyonnyodde nti ekiragiro kino bagenda kukiteeka mu nkola mu bwangu naye abo abaali baafuna ku ttaka lino Liizi, bajja kuliyirirwa oluvannyuma lw’okulyeddiza ne balibalirira, ekintu abasuubuzi kye bagaanye.
Akulira ekibiina ky’abasuubuzi kino, Robert Kisembo Kasolo, yagambye nti Liizi eno baagisasula akawumbi kamu n’ekitundu eri KCCA era ne ssente endala obukadde 76 mu mwaka gwa 2010.
Kisembo yawakanyizza eky’okusibira ebweru omusuubuzi yenna n’ategeeza nti buli eyali ayagala yayingira mu kibiina kino.
Okuva mu 2017, akatale kano kabaddemu ebiwayi bibiri era nga bano Pulezidenti Museveni yabasaba okwegatta, gavumenti esobole okubakwasa akatale kano bakeddukanyize.
Gavumenti yaliyirira kkampuni ya Rhino eyali efunye Liizi ku ttaka lino era bwetyo n’eriwa abasuubuzi.
Wabula abamu ku basuubuzi nga bakulembeddwamu Geofrey Kayita bagamba nti baalekebwa ebweru era nti babasaba okusasula obukadde bwa ssente n’emitwalo 5 egy’okwewandiisa bye batalina.
Abasuubuzi baweze obutava mu katale kano okutuusa nga babaliyiridde okusinziira ku Liizi gye baafuna.