
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Akola nga Minisita w’ebyamateeka n’obwenkanya, Muruli Mukasa agumizza abakozi b’essiga eddamuzi nga eby’okwerinda byabwe bwe bigenda okunywezebwa.
Kino kiddiridde abantu abatanategeerekeka okwegeza mu mmotoka ezitambuza akulira abalamuzi ba kkooti enkulu, Dr. Flavian Zeija ku wiikendi ne bbomu egambibwa okubeera enkolerere.
“Mulaba poliisi buli wamu era abakulu bagenda kuweebwa emmotokz ez’omulembe okulaba nti tetulekaawo miwaatwa. Okusooka twatya nti bali bagikubye masasi naye alipoota ya Minisitule y’ensonga z’omunda eraga nti tewali kukuba masasi,” Minisita Muruli bw’alambuludde.
Okubagumya Mukasa abadde mu musomo gw’abawaabi ba gavumenti ogwategekeddwa woofiisi ya Ssaabawaabi ku Imperial Royale Hotel mu Kampala wansi w’omulamwa gw’okulwanirira eddembe ly’obuntu n’ebisobola okuleetawo enkulaakulana.
Kinajjukirwa nti Zeija yasimattuse abantu bano nga bafunye kisago kyonna wabula emmotoka mweyabadde atambulirira yayabise emipiira netasobola kweyongerayo.
Okusinziira ku Minisita Muruli okunoonyereza ku bulumbaganyi buno bukyagenda mu maaso era nagattako bino eby’okwerinda bya bakozi mu ssiga eddamuzi byongedde okunywezebwa.
Eby’okwerinda bino bigenda kutuukira ddala mu maka gabwe n’ebifo byonna gyebakolera essaawa 24 era nakakasa nti ababadde emabega w’ebikolwa bino bajja kukwatibwa bavunaanibwe.
Ssaabawaabi Janes Frances Abodo alaze obwetaavu okunyweza eby’okwerinda byabwe kuba bakolera mu kutya kuba emirimu gyebakola gibasembereza abazzi b’emisango ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga.









