Bya Ronald Mukasa
Mengo – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abakulembeze mu nzikiriza ey’Obuwangwa n’Ennono okulongoosa Enzikiriza yabwe nga balwanyisa ebikolwa eby’ekko mu bantu babwe omuli okusaddaaka abaana, okusobya ku bakyala, okusaba abantu ssente mu lukujjukujju n’ebirala. Owek. Kazibwe bano abategeezezza nti ekyo bwebanaakikola ate nebabangula n’abantu ku nzikiriza eno, ejja kuganja kubanga buli omu ajja kuba azibuddwa amaaso ku nsonga ezigikwatako. Bino abayogeredde ku Bulange e Mengo bwabaddde ayogerako n’abakulira enzikiriza y’Obuwangwa n’Ennono abakiise Embuga olwaleero
Owek. Kazibwe asinzidde wano n’akunga Abaganda okukuuma ennono nga basosoowaza obulombolombo bwabwe awatali kwekwasa nsonga yonna bagonjoole ebizibu ebibalumba entakira. Okusinziira ku Minisita Kazibwe, waliwo abakulembeza obuyigirize n’okukopperera eby’ekizungu nga balowooza batambula n’omulembe ate nebasuulirira ebyabwe era bano abavumiridde nagamba nti bebaviiriddeko okufeebya ennono za Buganda.
Omukulembeze w’Enzikiriza eno, Ssaabakabona Jumba Lubowa Aligaweesa yebazizza Obwakabaka olw’okubaaniriza era naasaba enkolagana yabwe n’Obwakabaka enywezebwe bongere okwegazanyiza Embuga n’okusembezebwa ku mwanjo nga bweguli ku bakulembeze ab’Enzikiriza endala. Ono asinzidde wano nasambajja ebyogerwa nti buli musamize abeera wa nzikiriza yabwe era yebazizza emikutu gy’Obwakabaka egy’Amawulire olw’okubasembeza nebafuna omwaganya okusaasaanya obubaka obutuufu ku nzikiriza eno.
Akulembeddemu banne, Ssaabataasa Kasiko Mutaasa asuubizza okwongera amaanyi mu kukunga ab’Enzikiriza eno bongere okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka. Bano bakiise n’Oluwalo lwa bukadde bw’ensimbi butaano.