Bya Ssemakula John
Bazukkulu ba Gabunga abaawangula ebifo ebyenjawulo mu kalulu akaawedde aka 2021, eggulo baakedde kusisinkana Omutaka omukulu Owaakasolya k’Emmamba, Jjajja Gabunga Mubiru Zziikwa, okuwoza olutabaalo.
Mu bano mulimu abaawangula obwakkansala, bammeeya, n’ababaka ba Palamenti awamu n’abalala.
Mu bakulembeze abazze kwe kwabadde Mmeeya wa munisipaali y’e Kira Julius Mutebi, omubaka w’ekibuga Lugazi omulonde, Stephen Sserubula n’abalala nga bano balombojjedde jjajja bwe embeera gye bayitamu.
Omubaka omulonde owa Munisipaali y’e Lugazi, Stephen Sserubula, yategeezezza nti baakutunuulira obusobozi obwa buli Mutuba mu kika ky’Emmamba, okulaba ogusinga okukola obulungi. Ate ye mmeeya wa Kira, Julius Mutebi yagambye nti, “Jjajja twagala okukwebaza weebale kukuuma kika kyaffe ne bonna abakukwatirako era tujja kusanyuka nnyo nga tuyitibwa okuwa ebirowoozo byaffe ku ebyo bye tulowooza ebisobola okutumbula ekika kyaffe.” Omubaka Sserubula bwe yagambye.
Jjajja w’ekika ky’mmamba, Omutaka Mubiru Zziikwa ng’aliwamu ne bakulembeze banne, b’ozaayozezza bazukkulu baabwe olwokutuuka ku kkula ly’obululembeze kyokka ne babasaba obuteerabira kika kyabwe.
“Nga bwe mwalidde obwami temuddeyo kudigida budigizi ate mu kung’aanye abazzukulu era mweweeyo okukikulaakulanya,” Omutaka Mubiru Zziikwa bwe yategeezezza.
Ate Ssaabawandiisi w’ekika ky’Emmamba, Andrew Benon Kibuuka, yabasabye mu buli kye bakola bakulembeze ekika kyabwe era bafube okukiweereza awamu n’okukiyiyiza, kisobole okukulaakulana.