
Bya Ssemakula John
Buikwe – Kyaggwe
Bazzukulu ba Gabunga abava mu ssiga lya Wampuna nga bayita mukibiina kyabwe ekya Mmamba Bumu basisinkanye nebaganyagana awamu n’okukuba ttooci mwebyo ebituukiddwako ekibiina kyabwe
Omukolo guno guyindidde ku mutala Gwagalo mu ggombolola ye Ngogwe e Buikwe mu ssaza lye Kyaggwe.
Katikkiro w’Ekika ky’ Emamba, Mulindwa Kagendaga asabye abazzukulu okujjumbira ensisinkano zino kibayambe okwongera okuyiga ennono y’ekika kyabwe awamu n’okunyweza obumu.
Ono agasseeko nti ekibiin kino ekya Mmamba Bumu kyatandikibwa okuyambako abazzukulu mu mbeera yonna nga ennaku n’essanyu nasaba ab’emmamba bonna okukijjumbira.
Ye Jjajja akulira essiga lya Wampuna era omuwanika w’Ekika, Nsubuga David Ndibo kino ategeezezza nti enkola ya Mmamba bumu ebayambye okutandika enteekateeka ez’enjawulo okusobola okuyimirizaawo emirimu gy’Ekika n’okusobola okukuuma ettaka.

Omuwanika Nsubuga asabye abazzukulu okuwaayo okwagala kwabwe n’ebirowoozo eri enteekateeka eno n’ekika nga batandikira mu mpya era bagoberere emirimu gyonna egikolebwa okusobola okutwala ekika kino mu maaso.
Abamu ku bazzukulu abeetabye mu nteekateeka eno beebazizza abatandisi baayo nebakakasa nga abamu ku bannabwe bwebasobodde okufuna emirimu naye nga mu byonna bakulembeza mpisa.
Kinajjukirwa nti buli mwaka ab’ Emmamba bakungaanira ku butaka bw’Amasiga ag’enjawulo okwongera okumanyagana wamu n’okulondoola ebikolebwa ku masiga gabwe awamu nemu Kika.









