• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’Eggombolola mu Gomba, Busujju, Mawokota ne Butambala babanguddwa

Gambuuze by Gambuuze
February 4, 2026
in Amawulire
0 0
0
Ab’Eggombolola mu Gomba, Busujju, Mawokota ne Butambala babanguddwa
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Kanoni-Gomba

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asisinkanye abaami ba Kabaka mu masaza; Gomba, Busujju, Mawokota ne Butambala mu kwongera okubalambika ku nkola y’emirimu, enteekateeka eno ebadde ku mbuga y’Essaza Gomba.

Minisita Kawuki alaze nti mu nteekateeka ya gavumenti ez’ebitundu waliwo ekiruubirirwa ky’okwongera okukuza n’okunyweza obukulembeze okusobola okunnyikiza enkola y’emirimu wamu n’empeereza esinga naddala mu ggombolola ng’akikaatiriza nti abaami ab’eggombolola be basinga okutuuka obuteerevu ku bantu ba Kabaka kale nga okunyweza enkola ezo zonna kyetaagisa okuzukusa abaami abo.

Kawuki taleseeyo kukubiriza baami bano kubeera bayiiya nga benyigira mu mirimu naddala egyo egivaamu ensimbi.

“Obuyiiya bwesigama ku mbeera abaami mwe bakolera eky’okulabirako be baami abali mu bibuga nga oluusi tebalina ttaka limala, basobola okutandika pulojekiti enyangu katugambe omwami asobola okutandika ekyolerezo ky’emmotoka ku ggombolola, ate omwami alina ettaka asobola okussaawo omusiri gw’emmwaanyi oba olusuku kitegeza nti obuyiiya butambulira mu mbeera ebaawo naye wakati mu kulambikibwa okuva waggulu kuba bwe tubeera tukola emirimu tufaayo nnyo ku butondebwensi ate era nga gikulakulanya abantu ba Ssaabasajja” Minisita Kawuki.

Omwami wa Kabaka mu Ssaza Ggomba Kitunzi Fred Williams Mugabi akubirizza abaami b’eggombolola abeetabye mu nsisinkano eno okwongera okunoonya okumanya nga basobole okutuuka obuggumivu ku bantu be baweereza.

“Mbakubiriza okunonya okumanya kuba abantu be tuweereza nabo bamanyi, basomye, era banonyereza kale bw’osanga ffe nga ate ffe tulina okubawa ekyokola n’okubayamba nga tetusobodde kunoonya kumanya eba nsobi era tetujja kusobola kubayamba” Owek. Mugabi, Kitunzi bwanyonyodde.

Ye Omwami w’Essaza Busujju Israel Lubega Maaso alaze essuubi nti singa abaami b’eggombolola z’e Busujju bateeka mu nkola bye basomesedwa mu nsisinkano eno bajja kwanguyirwanyo okunnyikiza federo ey’ebikolwa etambuzibwa mu Bwakabaka.

Mu nsisinkano eno y’emu, abaami baweereddwa omukisa okubuuza ebibuuzo n’okukubaganya ebirowoozo era babuuzizza minisita Kawuki ebibuuzo byonna bye babadde nabyo wamu n’okusaba okuwabulwa okwenkizo. Akanyomero kano kavuddemu ebirowoozo n’ensonga nnyingi ezinaayamba mu kuzimba obukulembeze bwa Gavumenti ez’Ebitundu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.