Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abantu ba Kabaka abawangaalira e Ssembabule mu Mawogola wansi w’enteekateeka ya CBS PEWOSA, basiimye Nnyinimu olw’ekirowoozo kino ekibayambye okwekulaakulanya.
Bano abeegattira mu kibiina kya Magezi Bugagga – CBS PEWOSA MITIMA mu ggombolola ya Mutuba I, Lugusuulu bategeezezza nti enkola eno ebayambye okubaako kye bafiisa era ne batereka okumala omwaka mulamba.
Okusinziira ku ssentebe kino, Kagolo Fesito Ndawula, omwaka guno bakoze bulungi wadde nga wabaddewo okusoomooza kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
“Twebaza nnyo Ssaabassajja Kabaka olw’obuyiiya n’amagezi okussaawo CBS PEWOSA kuba etukoze obulungi kuba kati we njogerera abantu abatereka ssente zaabwe okumala omwaka, ssente zaabwe zaatuuse dda ku akawunta zaabwe.” bwe Kagole bwe yannyonnyodde.
Ono agamba nti enkola eno ebayigiriza okutereka kuba baatandikira ku 2000 ne badda ku emitwalo 2 wabula kati boogerera mu bukadde naye olwaleero bonna bammemba 30 batereka obukadde obusoba mu 20.
Ye omwami wa Kabaka atwala eggombolola eno, Nantume Hamidah, yakunze abantu naddala abakyala mu kitundu kino okweyunira CBS -PEWOSA kibayambe okwekulaakulanya n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe kuba kati babugabana n’abaami.
Omu ku bammemba , Kanaluswata Joseph, yannyonnyodde nti enkola eno ebasizeemu obumu ne kibayamba okugenda mu maaso. Ate ye Tumusiime Angellah agamba nti kyali kizibu okutereka ssente awaka n’atazikozesa naye kati ebintu byakyukamu kuba mu CBS- PEWOSA atereka talina kyatya.