Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abatuuze mu Ssembabule mu ggombolola y’e Kawanda ne Lugusuulu, basabiddwa okwanguya omulimu gw’okubakolera enguudo nga bawaayo ettaka, amakubo ge bagenda okubakolera we galina okuyita.
Okusaba kuno kukoleddwa Yinginiya mu Minisitule y’ebyobulimi, Katwere Stephen n’asaba abatuuze okwenyigiramu omulimu guno gusobole okutambula.
“Tufuna obuzibu nga tukola enguudo mu bitundu kuba abantu tebaagala kutuwa ttaka oluguudo we lulina kuyita era nsaba abatuuze ku mulundi guno tukolaganire wamu.”Yinginiya Katwere bw’asabye.
Bw’abadde atongoza omulimu guno, Minisita Sam Kuteesa, ategeezezza nga ebimu ku bizibu ebiri mu gavumenti kwe kukola ebintu naye nga tewali abyogerera era y’ensonga lwaki batongozza oluguudo luno.
Kuteesa yeebaziza aba minisitule nti kuba akulira abakozi yabawandiikira ng’ayita mu ye era n’abatuukirira, era n’abasaba bakole bulungi oluguudo.
Asabye abatuuze okukkiriza abagenda okukola oluguudo nga tebabasabye ssente kuba tewali gwe bagenda kuliyirira. “Mbasaba muweeyo ettaka awagenda okuyita oluguudo bwe muba temwagala ebimotoka ebigenda okukola tubizzeeyo, kati nga tebinnatandika kuba tewali agenda kuliyirirwa nga bwe mulowooza.” Kuteesa bw’agambye.
Akulira abakozi mu disitulikiti eno, Batalingaya Willy, asabye abatuuze obutatwala nsonga eno nga yakusaaga kuba si buli kitundu nti kirina omukisa guno.
Omubaka wa Pulezidenti e Ssembabule, Walugembe Ramathan, naye asiimye minisita olwokubasakira n’ategeeza abantu nti bakkirize oluguudo lukolebwe awatali kumala kukanda nsimbi ezitaliiwo mu kiseera kino.
Ssentebe wa disitulikiti omulonde, Nkalubo Patrick, agambye nti enguudo ezisigadde ng’amaze okulayira bagenda zikola era n’asaba abakozi ba gavumenti bakole kye bateekedwa okukola, abantu bafune obuweereza.
Abatuuze basiimye entanda ebaweereddwa era ne basuubiza okuwaayo ettaka omulimu guno, omulimu gusobole okutambula obulungi.