Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abakulira eby’obulamu mu Disitulikiti y’e Ssembabule balaajanidde gavumenti ebayambe ebafunire ku byeyambisibwa okukebera ekirwadde kya Ssennyiga Corona kubanga bwe balina bwaggwaawo.

Atwala eby’obulamu mu disitulikiti eno, Dr. Charles Matovu, ategeezezza omukutu guno ogwa Gambuuze nti obukebera bwe baalina baabukozesa nebuggwaawo nga tebaweebwanga bulala era nga n’obutono bwe babadde balina baali baabusaba ku ddwaliro ekkulu e Masaka.
“Testing Kits zaatuggwaako era nga n’obwo 15 obwaliwo nali mbunonye Masaka naye nabwo bwaggwawo nga kati twetaaga okuyambibwa,” Dr. Matovu bw’asabye.
Ono annyonnyodde nti baddukira mu ddwaliro e Masaka nebasabayo obukebera era nebabukozesa okukebera abantu abaali ne munnabyabufuzi Dez Byuma eyakwatibwa ekirwadde kino era nebuggwaawo.
Matovu agasseeko nti babiri ku bantu abaali ne Byuma baabasanga n’obubonero bwa Corona era nebabalagira okweyawula nga bwe balinda ebiva mu bakugu.
Yennyamidde olwabantu mu kitundu kino abavudde ku by’okunaaba mu ngalo ate nga n’abalina obukookolo obabalira mu ngalo ekiyinza okwongera ekirwadde.
Okusinziira ku bakulu mu kitundu kino, ekizibu ekirala ly’ebbula ly’amafuta oluvannyuma lw’ensimbi ezisoba mu bukadde 100 ezaabaweebwa okulwanyisa ekirwadde kino nga nazo zaggwaawo.
Kimanyiddwa nti mu kitundu kino abantu abakazuulibwayo n’ekirwadde kino bali basatu ng’omu yasimbuddwa nadda eka ate ng’abalala ababiri bakyajjanjabibwa ate nga be baaliko nabo bali mu Kalantiini.
Bino we bijjidde nga kigambibwa nti Mmeeya wa Ssembabule naye ali mu ddwaliro e Masaka gy’ali mu kujjanjabwa ekirwadde kino, abakugu wano we basinzidde okulabula bannabyabufuzi mu kitundu kino okukomya omuze gw’okukung’aanya abantu olw’okunoonya akalulu kubanga kiteeka obulamu bw’abalonzi baabwe mu katyabaga.









