
Bya Musasi Waffe
New England – America
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangaalira mu ssaza lye erya New England mu America, bakuzizza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’ebitundu nebawayaamu ku ngeri ez’enjawulo n’okwefumiintiriza ku meefuga ga Buganda.
Emikolo gino giyindidde mukibuga Boston era nga bano babadde bakulembeddwamu Omumyuka w’omubaka wa Kabaka mu kitundu kino, Omuk. Phiona Nattabi Kafeero kulw’ Omwami w’essaza lino Henry Ndawula omugonvugonvu.

Bw’abadde ayogerako eri abantu b’Omutanda, Omuk. Nattabi asabye abantu bano okukuuma ennono n’empisa za Buganda kuba yemu ku ngeri gyebasobola okunywezaamu Nnamulondo.
Owek. Kafeero aweze nga bwebali abeetegefu okunywerera ku Kabaka waabwe era ssi beetegefu kuttira muntu yenna ku liiso aseeseetuka okuva ku Namunswa.
Ye Minisita w’Ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki asabye buli muntu okwekalirizanga ensonga za Buganda kimuwonye okuwaba n’okuwubisibwa abasekeeterezi.

Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo era abeetabyeko boolesezza obumanyi mu bintu ebitali bimu era gwegumu kwejjo egikolebwa okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka abawangaalira mukitundu kino.









