Bya Jesse Lwanga
Mukono
Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Peter Bakaluba Mukasa, ali mu kattu oluvannyuma lwa bannamukono naddala ab’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okumutabukira me bamulangira okulya mu kibiina kyabwe olukwe.
Aba NUP balumiriza nti bwe baabadde ku mukolo ogusiibula ababadde abakulembeze baabwe ku disitulikiti wiiki ewedde, Bakaluba Mukasa yawaanyewaanye Minisita Ronald Kibuule n’ategeeza nga bwe bagenda okumusubwa era n’amusaba amutwale ewa Pulezidenti Museveni ayongere okusakira bannamukono.
Kino kyatanudde omukwanaganya wa NUP mu Mukono, Betty Nambooze, eyamutadde ku nninga annyonnyole obutuufu bw’ensonga eno era n’ensonga emuleetedde okukola kino.
Wabula Bakaluba yeegaanye ebyogerwa n’agamba nti omukisa ne bwegwandizze yandisoose kwebuuza ku kibiina kye ekya NUP.
Ono yabotodde ekyama nga bwe yaweereddwa kkaadi emuyita ku mukolo gw’okulayira kwa Pulezidenti Museveni naye n’agamba nti ku bino ebizzeewo takyasobola kugwetabako. Bakaluba yakakasizza bannamukono nga bw’atasobola kuva mu NUP ekoze ebyafaayo ate nadda mu NRM gye yava era amaaso agatadde ku kimu kyakulaba nga Mukama we, Robert Kyagulanyi atuula mu ntebe.
Omubaka Nambooze agamba nti ebigambo Bakaluba alabika yabyogedde asaaga naye bannamawulire ne babitwala ng’ensonga.