
Bya Ssemakula John
Mityana
Abatuuze mu ggombolola y’e Kalangaalo mu disitulikiti y’e Mityana, balaajanidde gavumenti ku nguudo embi eziri mu kitundu kyabwe ezivuddeko abakyala abali embuto okufuna obuzibu nga bagenda mu malwaliro.
Omulanga guno abatuuze baagukubidde mu kukola Bulungibwansi mu kitundu kyabwe era baagala gavumenti ebeeko ky’ekola mu mbeera eno.
Abatuuze bagamba nti abakyala ab’embuto basanga okusoomoozebwa nga batwalibwa mu malwaliro okuzaala olwebinnya ebijjudde mu makubo ate nga n’amalwaliro geesudde ekitundu, kale ng’olugendo luwanvu okutuukayo.
Bano baasitukiddemu ne batandika okuziba ebinnya mu makubo mu nkola eya Bulungibwansi era ng’enteekateeka eno yakuliddwamu Omusumba Tomusange George William ssaako n’abakulembeze mu kitundu kino.
Omusumba Tomusange George William aliko ebigoma bye yawaddeyo biyambeko mu kutereeza amakubo agafuuse ekizibu, oluusi agaviirako amazzi okwanjaala olwo eby’entambula n’ebisannyalala.
Era mu ngeri yeemu abatuuze b’e Lungujja Kosovo mu ggombolola y’e Lubaga nga baakulembeddwamu kkansala waabwe, Hajjat Sarah Nantongo Ssemambo, nabo baakoze bulungibwansi okwongera ku mutindo gw’obuyonjo.
Bano baawanjagidde gavumenti okubazimbira emyala gibayambeko okutambuza amazzi agabayingirira buli enkuba lw’etonnya.
Bano era baalabudde batuuze bannaabwe abasuula kasasiro mu myala okukikomya bunnambiro era anaakwatibwako kaakumujjuutuka.
Bano era bakukkulumidde gavumenti olw’obutabazimbira malwaliro we bayinza okufuna obujjanjabi ekibakaluubiriza obulamu.









