Musasi waffe
Abakulembeze b’e Mawokota bakubiriziddwa bulijjo okujjukiza abantu baabwe okutwala abaana mu masomero nga tebafudde kukikula kyabwe yadde obulemu ku mubiri.
Bino byabadde mububaka bwa Minisita avunanyizibwa ku mirimu egy’enkizo Oweek. Daudi Mpanga bwayabadde ekiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kutuuza Kayima, omwami ow’essaza ly’e Mawokota.
Gabriel Kabonge yalondebwa kubwa Kayima omwaka oguwedde.
Ono amyukibwa Patrick Ssemalawa ne Godfrey Pizaroh Mujuzi.
“Omuntu atasomye ajja kubeera, mwavu, ajja kubeera mulwadde era ajja kusigala emabega,” Bwatyo Mpanga bweyategezezza.
Mpanga era yasabye abakulembeze okulwanyise obwavu bweyayogeddeko nti mpologoma eyagala okulya abantu ba Ssaabasajja Kabaka okubamalawo.
Yayongeddeko nti n’eddwadde y’obutamanya nayo eteekeddwa okulwanyisibwa kubanga abantu ba Kabaka balina okuba nga bategeera ensonga zonna ezigenda mumaaso munsi yaabwe.
Oweek. Mpanga era yakuutidde Kayima n’abakulembeze abalala okwewala okwawulayawula mu bantu ba Kabaka.
“Ssaabasajja Kabaka abantube abatambuliza wamu nga tasosodde yadde kkala, yadde ekikula ky’abantu yadde eddiini, yadde endowooza y’ebyobufuzi. Mu budde buno bwetugendamu mmwe abakiikirira Kabaka mulina okuba eky’okulabirako nga mugatta abantube nga mwewalira ddala embeera yonna ebayawulayawulamu,” Mpanga bweyagambye.
Ku lulwe, Oweek. Christopher Bwanika, ssaabawolereza w’Obwakabaka yasabye Kayima n’abamyukabe okukuuma ebyama bya Ssabasajja.
“Ekirayiro eky’obutatiirira Ssaabasajja Kabaka, eky’okukuuma ebyama tekikoma kulupapula era bulyomu aweereddwa kkopi asobola okuba nga yeejjukanya okubeera omwesigwa ate n’okukuuma obwesigwa obo nga ali mubuweereza,” Bwanika bweyagambye.
Yabakuutidde n’okulambula abaami ba Kabaka mu Mawokota okusobola okunyweza obukembeze ku buli muntendera wamu n’obwasseruganda.
“Abantu abaweerezebwa beebamu tebalina langi, tabalina njawukana yonna,” Bwanika beyagambye.
Omukolo gwetabiddwako abantu abangi okuli n’abakulembeze mu gavumenti eyawakati.