Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Abakyala abeegattira mu disitulikiti 9 mu bendobendo ly’e Masaka atambulira wansi wa Uganda Womens’ council beemulugunyizza ku nsimbi ezibaweebwa okwekulaakunya n’engeri gye zibatuukako bye bagamba nti bibulamu. Okwogera bino bano babadde ku Tropic Inn Hotel mu Masaka bwe basisinkanye okutema empenda ku ngeri gye basobola okugenda mu maaso.
Bano bategeezezza nti ensimbi ezibaweebwa gavumenti okwekulaakulanya eza UWEP (Uganda Women entrepreneur programme) enfuna yaazo si nnambulukufu, nga bassentebe b’eggombolola mu bitundu ebimu okuyinza bwazo babubaggyako nebabuwa bakyala baabwe.
“Wadde gavumenti erwanye nnyo okulaba nga twekulaakulanya naye abamu kuba Ssentebe ku magombolola obukiiko bwabwe tebakwatagana nabo nga bwe gutuuka ku bya ssente batusula bbali, mu byandibadde ebifo byaffe ne bateekawo bakyala baabwe.” Abakyala bwe bategeezezza .
Abakyala beemulugunya nti ng’oggyeeko bakkansala abakiikirira abakyala n’abakulembeze b’obukiiko bw’abakyala bwe balina naye waliwo obwetaavu bakkirizibwe mu ntuula za gavumenti z’ebitundu okusobola okugoberera ebigenda mu maaso.
Abakyala bawakanyizza eky’okuggya ssente zino mu minisitule y’ekikula ky’abantu ziddizibwe mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu kuba kigenda kukosa obuweereza.
Akulembera abakyala mu kibuga Masaka, Florence Owamaria, annyonnyodde nti obulyake obufumbekedde mu bagaba ensimbi zino tebwogerekeka kuba buli kibiina ekifuna ku nsimbi zino abakulu bazisolooza. Ate akulira akakiiko k’abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asinzidde wano n’ategeeza nga bwe bagenda okutongooza enteekateeka gye batumye Mayumba kkumi n’ataano (15),nga mu eno buli kyalo baakulondayo amaka 15 ge bagenda okuteekako essira okulaba nga g’ebbulula mu by’enfuna n’ebyobulamu.