
Okwekalakaasa mu divisoni ya Katwe-Butego ne Kimaanya-Kyabakuza mu kubuga ky’e Masaka kuyingidde olunaku olw’okusatu oluvanyuma lw’okukwatibwa kw’abakulembeze babasiraamu omukaaga okuli, Umaru Nsubuga ow’e Namaseenene, Lamulah Nakyeyune ne mutabaniwe ab’e Butego, Twaha Kayondo ow’e Kijjabwemi, Noordin Ssali n’omulala eyategeerekeseeko erya Bashir ababeera ku kyalo Kigamba.
Okujjako Nakyeyune, abasigadde bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu mizikiti egy’enjawulo.
Abenganda zabano bagamab nti abantu baabwe baakwatibwa abasirikale ba gavumenti naye nga tebaabagamba nsonga eyabakwasa.
Abenganda wamu n’emikwano baagala kumanya lwaki bano baakwatibwa okumala ennaku ezikkirizibwa mu mateeka ng’ate tebabatutte mu kkootii.
Nga bakulembeddwamu Abdu Nasser Mutebi ne Hadaad Kibirige, baategeezezza nti bagezezzaako okunonya abantu baabwe ku Poliisi ez’enjawulo naye nga buteerere.
Omukaaga guno gwakwatibwa okuva nga May 18 nga baasooke ne Nsubuga.
Okusinziira ku nnyina, Scholastica Nanteza, ono era yakubibwa amasasi mu magulu bweyali agezaako okudduka.
Ono yassibwa ku mpingu era naatwalibwa mu makage agaayazibwa, abasirikale ne bagenda nebiwandiiko byebasangamu.
Ono yatwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka ng’avaamu omusaayi muyitirivu.
Yateekebwako omusaayi omulala kyokka teyalongoosebwa era enkeera naatwalibwa ku kitebe ky’amagye e Mbuya mu Kampala.
Maama we agamba teyakkirizibwa kuyingira era okuva olwo, taddangayo kumuwuliza.
Mu kiro kyekimu, Kibirige agamba era abasirikale baakwata Lamulah Nakyeyune owemyaka 53 ne mutabani we.
Ate ku Lwokutaano wiiki ewedde, Twaha Kayondo owemyaka 61 nga Imaam w’e Kijjabwemi, Noordin Ssali wamu ne Bashir nabo baakwatibwa.
Mukyala wa Kayondo, Mariam Nalubega yakubidde omulanga omubaka wa Pulezidenti e Masaka Herman Ssentongo okuyingira mu nsonga eno okulaba ng’omwamiwe ateebwa oba atwalibwa mu kkooti.
Omwogezi w’eggye lya UPDF atwala enkambi y’e Kasijjagirwa, Maj. Flavia Terimulungi, yategeezezza nti sibebalina abakawte bano.
Ono kyokka yasabye abengganda bano okuba abakkakkamu ng’a bwebagezaako okuzuula wa abantu baabwe gyebali.
Edward Walugembe, ssentebe w’ekyalo Kigamba yategeezezza nti tebeebuuziddwako g’abantu bano bakwatibwa kyeyagambye nti kikyamu kubanga abakozi b’ebikolobero bayinza okukozesa omukisa guno okuwamba abantu.
Mu 2017, Nsubuga ne Nakyeyune baakwatibwa kubyekuusa kukuttibwa kweyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi.
URN









