Bya Ssemakula John
Kampala
Abantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Kyaggwe basabiddwa okwettanira okulima ebirime ebikula amangu era nga babirimira awafunda.
Bino bibadde mu musomo ogutegekeddwa ku kyalo Kisoga mu ggombolola y’e Ntenjeru e Mukono, okwongera okuwa abantu b’ekitundu kino amagezi ku ngeri gye basobola okwekulaakulanya.
Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya agamba kino bakikoze okusobola okulaga abantu nti kisoboka okufuna ssente nga balimira mu kifo ekifunda.
Okusinziira ku Ssekiboobo Mulembya, baagala buli maka gabeeko ne kye gasobola okutundu mu butale obwetoolodde Mukono ne Buikwe era bakyuse obulamu bwabwe ne Buganda esobole okudda ku ntikko.
Ssekiboobo asabye amaka agalina ebifo ebikalu okusimbamu ennyaanya, watermelon, emboga wamu n’ebirala bye basobola okufunamu ensimbi.
Akulira ebyobulimi mu Kyaggwe, Philly Lubega agamba nti bagenda kutandikira ku birime ebisobola okukulira awafunda era nga bikula mangu mu kiseera kye kimu nga bireeta ensimbi.
Omukugu mu by’okulima, Mike Ssegawa Ssali, abantu abasomesezza ebirime nga bwe birina okusimbibwamu awamu n’engeri y’okubirabirira.