Bya Ssemakula John
Kyaggwe
Ekitongole kya Buganda ekivunaanyizibwa ku bulimi ekya BUCADEF leero ku Lwokutaano kiwadde e ssaza ly’e Kyaggwe endokwa z’emmwanyi lukumi okusobola okutandikawo emereresezo ly’emmwanyi mu ssaza lino.
Kino kikoleddwa mu nteekateeka y’okuyambako okutumbula ekirime ky’emmwanyi mu bantu ba Beene basobole okwegobako obwavu.
Emmeresezo eno eteereddwa ku mbuga y’essaza e Ggulu mu kibuga Mukono nga yakuyambako okutuusa ekirime ky’emmwanyi mu bantu abazeetaaga awamu nokuzagazisa abantu.
Omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya BUCADEF, Samuel Muwanga ategeezezza nti ekigendererwa kya kwongera ku bungi bw’emmwanyi obulimibwa mu ssaza lino ne Buganda.
Omwami akulembera essaza lino, Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya agamba bagenda kufuba okulaba nga batumbula emmwanyi okuddamu okubeera ekirime ekyettunzi nga bwekyali edda.
Ye akulira eby’obulimi mu ssaza lino Philly Lubega yeebazizza Ssaabasajja kabaka olw’okulonda Kyaggwe okutandikiramu enteekateeka eno ey’emereresezo kuba kigenda kuyambako okuggya abantu b’Omutanda mu bwavu.
Lubega annyonnyodde nti mu bbanga lya myezi mukaaga bagya kutandika okugabira abalimi endokwa z’emmwanyi