Mubende
Abakulembeze mu Ttawuni Kkanso ye Kasambye mu Mubende basabye gavumenti esuumuse eddwaliro lya Kasambye Health Centre III lifuulibwe Health Center IV.
Abakulembeze bano bagamba nti kino kyekisobola okutereeza eby’obujjanjabi mukitundu kino. Eddwaliro lino lifuna abalwadde 1,600 buli mwezi ate nga lizaalisa abakyala abasoba mu 100 buli mwezi.
Eddwaliro lino lirina Waadi eno ezaalirwamu nga erina ebitanda 8 byokka, kino kiwalirizza abakyala b’embuto abasulirira okuzaala okugabana ebitanda ne bannabwe, abamu basula ku ttaka ate abalala balindira ku mbalaza n’enkuubo z’eddwaliro lino.
Ssentebe wa Ttawuni Kkanso eno Buwembo Moses, agambye nti, “ Eddwaliro lino lyetaaga lifuuke Health Centre IV okusobola okutaasa abakyala abafa n’abaana abalina abalina akawuka ka Mukenenya.”
Ku nsonga y’emu, Kkansala ku Ttawuni Kkanso ye Kasambya Evelyn Nakayiza anyonyodde nga abakyala abalina embuto bwebaddukidde ku ddwaliro lya Mutebi Regional Hospital wabula nga lino liri wala nnyo.
omuyambi w’atwala eby’obulamu ku disitulikiti ye Mubende Bosco Ssendikaddiwa anyonyodde nti eddwaliro lino lituula ku yiika 7 era nga waliwo obwetaavu bw’okuligaziya.
Ssendikaddiwa agamba nti singa eddwaliro lino ligaziyizibwa, kijja kusembereza abantu eby’obujjanjabi era kyongere okutondawo emirimu.
URN