Bya Yusuf Muwuluzi
Kalangala
Abantu ba Beene abawangaalira mu bizinga by’e Ssese, bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okulaba ku ssuubi ly’okufuna amasannyalaze ga UMEME.

Kino kirangiriddwa Minisita w’amasannyalaze n’ebyobugagga eby’omutaka, Mary Goretti Kitutu ku Lwokusatu ku mukolo ogwabadde e Bugoma mu bitundu by’e Ssese.
Minisita Kitutu yatemye evvuunike okutongoza omulimu guno era n’ategeeza nti gugenda kuwemmenta obuwumbi 32 era nga gagenda kutambuzibwa kiromita 7 okuva e Bukakata mu Masaka.
Ono yannyonnyodde nti aba Ssese bamukisa kubanga be basoose okufuna amasannyalaze nga gayise wansi mu mazzi mu Uganda yonna.
“Kino kirungi kuba mu Uganda tulina amasannyaze agamala, tulina megawatts 1200 naye tukozesaako megawatts 700,” Minisita bwe yategeezezza.
Okusinziira ku Minisita, omulimu guno gwaweereddwa kkampuni y’Abachina eya CCC Beijing Industrial Commercial Company LTD, nga bagenda kulondoolwa aba M&E Associates LTD, okulaba ng’omulimu gutambula bulungi.
Minisita Kitutu yagambye nti kino kigenda kwongera okutumbula eby’obulambuzi mu kitundu ky’e Kalangala wamu n’okwongera okusikiriza bannamakolero okwettanira ekitundu kino.
Enteekateeka gye balina eraga nti amasannyalaze gano gagenda ku buyinsibwa ku byalo 27, nga buli kyalo kigenda kuweebwa Transformer era ng’amaka agawera 1142 ge gagenda okuganyulwa mu nkola eno, kuba emiti ku bizinga baamala dda okugisimba.
Wadde mu kitundu kino abantu baayo babadde bafuna amasannyalaze agava ku njuba (Solar), abatuuze bategeezezza nti kino kyakubayamba kubanga ag’enjuba gabadde gavaavaako buli nkuba lw’etonnya.
Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kalangala, William Lugoloobi, agambye nti bagenda kwanguyirwa emirimu kubanga omulimu omukulu buvubi naye kibadde kizibu okukola Ice akuuma ebyennyanja bino nga biramu kuba ebintu ebisinga ababadde babinona Masaka olw’ekizibu ky’amasannyalaze.
Abamu ku batuuze eby’okuyisa amasannyalaze mu mazzi baabadde babigobye nga bagamba kiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Bano omwogezi w’ekitongole ekibunyisa amasannyalaze ekya Rural Electrification Agency, Dr. Patricia Litho abagumizza n’abategeeza nga waya bweziri eng’umu era nga zigenda kuteekebwa ku ntobo y’ennyanja era nga tekijja kubakosa wadde obutonde bw’ensi.









