
Bya Ssemakula John
Buweekula
Abantu ba Kabaka mu Ssaza lya Buweekula babanguddwa ku bukulu bw’okugaba omusaayi okutaasa abagwetaaga okwetoloola eggwanga.
Okubangula kuno kukoleddwa ekitongole ki Kabaka Foundation wamu ne bannamikago aba Uganda Red Cross Society ne Uganda Blood Transfusion Service ng’ okusinga essira liteereddwa ku Baami ba Kabaka abatwala essaza lino.
Bw’abadde asomesa Abaami bano, Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Kaggwa Ndagala ategeezezza nti waliwo obwetaavu okukendeeza ku bantu abafa olw’ebbula ly’omusaayi bwatyo nasaba Bannabuweekula okujjumbira enteekateeka eno.
Omukungu Ndagala agamba nti abantu bangi n’okutuusa kati tebamanyi nti omusaayi oguteekebwa ku bantu mu malwaliro guweebwayo abantu bwatyo nasaba abaami ba Kabaka okwongera okusomesa abantu baabwe ku kugaba omusaayi.

Omukungu Ndagala nti abantu basaanidde okukimanya nti tewali kifo kyonna w’ebakolera musaayi nti gavumenti gyenagugula nga nabwekityo abagulina beebalina okuwaayo okusobola okutaasa abo abali mu bwetaavu bwagwo.
Ono aweze nti ssi waakusa mukono okutuusa ng’ekizibu ky’ebbula ly’omusaayi mu ggwanga kilinyiddwa ku nfeete.
Avunaanyizibwa okukunga n’okumanyisa abantu ebikwata ku musaayi mu kitongole ki Uganda Red Cross Society, Sarah Mutegombwa asomesezza abantu ba Beene ku bukulu obuli mukugaba omusaayi.
Ye omukugu okuva mu Uganda Blood Transfussion services, Bbosa Mugisha yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’omulimu amakula gwakoze mu kutaasa abantu be naddala nga yenyigira mu nteekateeka ez’okutumbula eby’obulamu omuli okulwanyisa endwadde wamu n’okugaba omusaayi.
Omwami wa kabaka atwala essaza Buweekula Luweekula Immaculate Nantayi Kafeero akunze bannabuweekula bonna okujjumbira okugaba omusaayi basobole okuwangula ekirabo eky’Eddwaliro ekyasiibwawo Ssaabasajja Kabaka.
Enteekateeka y’okugaba omusaayi mu ssaza lino yakutandika nga 4 omwezi gwa Ntenvu okutuuka ng’ennaku z’omwezi munaana omwaka guno era Bishop Anthony Zziwa yagenda okubeera omugabi w’omusaayi omukulu.









