
Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Abatuuze mu Ssaza lya Kabaka elye Buddu mu ggombolola ya Nyendo-Mukunngwe, bafunye akamwenyumwenyu oluvannyuma lw’okulaba ng’omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Kabaka gutandise.
Bano beyanzizza Beene olw’okusiima nabawa eddwaliro kyebagambye nti kyakugonjoola ebizibu byebalina mu byobulamu.
Akuliddemu omulimu guno okuva mu Kampuni ya A4 Agency Uganda, Eng. Alex Mukasa ategeezezza nti okutereeza ekifo kwawedde dda nga kati bali ku musingi gw’ekifo awatuukira abalwadde.
Ye Omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Mukiise – Mituba VI Mukungwe, Sheik Ahmad Kabogozza agambye nti eddwaliro silyakubayamba mu byabulamu byokka wabula nemu by’enkulakulana mu kitundu.

Kabogozza yeegasse ku batuuze nebeyanza Ssaabasajja olw’okuteeka ebyobulamu ku mwanjo.
Akulira olukiiko lw’ekibuga kye Masaka olukakasa n’okulondoola ebizimbe era nga kansala ku lukiiko lw’ekibuga, Nnanungi Alice akakasizza nti bo ng’abatwala ekibuga bagenda kulondoola omulimu guno okukakasa nti gutambula era guggwa bulungi.
Kinajjukirwa nti, Ssaabasajja yasiima amalwaliro gazimbibwe mu Masaza ge gonna era ng’eteekateeka eno etandikidde mu masaza okuli Buddu, Singo ne Kyaggwe. Ekigendererwa ky’enteekateeka eno kyakutuusa bujjanjabi ku bantu ba Kabaka ababonaabona olw’ebyobulamu ebitatuukiridde.