
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Hajji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asabye abazadde mu Buganda ne Uganda okwogera n’abaana akaati baleme kubaako kyebabakisa ku nsonga z’ebisiyaga okusobola okubataasa.
Okusaba kuno Owek. Kaawaase akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 52 n’okusoba okuva mu Bannamawogola awamu ne Bannabulemeezi.
Hajji Kaawaase agamba nti abazadde tebalina kutya kwogera ku bisiyaga eri abaana baabwe nabasaba bababuulire obulabe obubirimu omuli ne Mukenenya okusobola okubataasa.

Owek. Kaawaase abazadde abawadde amagezi okuwabula abaana bano bakutambulize ku ddiini, ennono n’obuwangwa era nasiima Palamenti mu ngeri ey’enjawulo olw’okukola etteeka erikugira omuze guno kuba ababitembeeta baagala kuzza Buganda mabega.
Owek. Kaawaase ayogedde ku Luwalo nga akamu ku bubonero obulaga nti Buganda egenda wala era erina abakulembeze abatuufu abatambula n’abantu.
Ono alabudde ku bantu abalemedde ku kusanyaawo obutonde bwensi nga batema emiti n’okwokya amanda
Kaawaase era asabye abantu ba Kabaka okunyweza obumu awatali kweyawula mu ddiini oba ebibiina by’ebyobufuzi kuba ekibagatta bonna ye Ssaabasajja Kabaka.
Ye minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza ababaka ba Palamenti olw’okuwagira enteekateeka eno okusobola okuvumirira emirimu gy’ Obwakabaka.
Ye omwami wa Kabaka ow’essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo yenyamidde olw’obubbi bw’ettaka obweyongera buli lukya nawera obutatiirira Nnamunswa.

Ate Omwami atwala Mawogola, Muteesa Muhammad Sserwadda yeebazizza abo bonna abavaayo okujjumbira enteekateeka eno obutakoowa.
Omukolo guno gwetabiddwako ababaka Hanifah Kawooya Bangirana, omubaka Theodore Ssekikubo, Shartsi Musherure awamu n’abakungu abalala okuva mu gavumenti eyawakati.
Eggombolola nnya (4) okuva mu ssaza ly’e Bulemeezi abaleese obukadde 19 n’ezigwamu n’eggombolola 6 okuva mu ssaza Mawogola abaleese obukadde 36 n’emitwalo 35 mu 9300 okuweza obukadde obukunukiriza mu 53 bebakiise embuga olwaleero mu nkola ya luwalo lwaffe mu nkuba ekedde okufuddemba.









