Musasi Waffe
Medard Lubega Sseggona eyaliko minisita avunanyizibwa ku mawulire mu Bwakabaka nga kati ye mubaka mu palamenti akiikirira Busiro East, akyaliddeko abavubuka ba Nkobazambogo abasomera mu ssetendekero wa Busitema ettabi ly’e Nagongera wamu nery’e Namasagali.
Sseggona yawerekeddwako Omukwanaganya wa bavubuka Oweek. Kiyemba Hassan wamu n’omukwanaganya we mizannnyo Nsozi Adam Ssematiko.
Seggona akubirizza abavubuka okusoma ennyo okutuukiriza ekyabatwala mu matendero gano.
Asabye abavubuka bongere obuyiiya bakendeeze okusabiriza n’agamba nti enkola ya ngalo bunani tekyakola Ku mulembe guno Omutebi. Yeebazizza minisitule y’abavubuka okuteeka amanyi mu kulondoola abavubuka ba Buganda yonna gyebali okubasigamu omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Abakuutidde okunyweeza emikwano gyebafuna mu matendekero n’agamba nti bano gyemikwano gyaffe egyannamaddala. Yeeyamye okwongera obuwagizi eri ebibiina bya Nkobazambogo kubanga ekyo kye kiyonjo ekyamwoola.