Bya Ssemakula John
Gomba
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga abasoma abasabye okweyuna okulima bakugatte ku mirimu egy’enjawulo gye bakola bwe baba baagala okugenda mu maaso n’eggwanga okukulaakulana.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu kulambula abalimi b’Emmwanyi mu ssaza ly’e Gomba mu nteekateeka y’Emmwanyi Terimba ku Lwokusatu, mu kaweefube gw’abaddeko ow’okwagazisa abantu okulima emmwanyi awamu n’okutumbula omutindo gwazo.
Bw’abadde alambula ennimiro ya Mw. Fred Kitandwe ku kyalo Matongo, Katikkiro Mayiga abayivu abawadde amagezi ku bye bakola okugattako okulima n’okulunda basobole okwongera ku nnyingiza yaabwe.
“Bamwagala luzungu batugyeko akajanja balabire ku mwami Kitande n’omukyala ne Ssentebe wa Bucadef kubanga ono naye Yinginiya ate si bano bakamyufu naye bayingiya abaagenda e Makerere naye ennimiro azirina. Kaakati Yinginiya alima atya ate munnamateeka n’ogamba nti emmwanyi tezifuna.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Kamalabyonna asookedde wa Mw. Joseph Ssebandeke ku kyalo Kateete mu ggombolola y’e Kabulasoke era asinzidde wano n’akunga abantu okwongera okulima emmwanyi bakomye okwekwasa akawuka k’emmwany, kuba eziriwo kati teziriibwa buwuka.
“Oli asobola okuba ne yiika emu ey’olusuku n’ayunja amatooke buli wiiki naye ggwe n’oba ne yiika 10 ne bigaana. Ne ku mmwanyi bwekiri ennima, okuwembera, okubikka obunyogovu busigale mu ttaka, okuweta zizaale amatabi.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga abalimi abawadde amagezi okulunda ebisolo bisobole okubawa obusa bwe basobola okukozesa ng’ebigimusa, emmwanyi zaabwe zisobole okufuna empeke ennene n’omutindo omulungi, basobole okufunamu ssente ezeegasa.
Omwami w’essaza Gomba, Celestino Musisi ategeezezza Katikkiro Mayiga nti eky’okusaba abaganda okuddamu okulima emmwanyi kikulu nnyo kuba bangi bakulaakulanye.
Mu kulambula kuno, Kamalabyonna awerekeddwako Minisita w’Ettaka, Obulimi n’obutonde bw’ensi, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo, Minisita omubeezi ow’obulimi n’Obwegassi, Owek Hajji Amisi Kakomo, Minisita w’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, Omwami w’essaza Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala, Kasujju Mark Jiingo Kaberenge, Kitunzi ow’e Gomba, n’abakungu mu bitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo.