
Bya Musasi Waffe
Kampala
Abamu ku bayindi abawangaalira mu Uganda bawandiikidde gavumenti nga beemulugunya ku ngeri gye basosolwamu naddala nga bava e Buyindi okudda e Uganda olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Ebbaluwa eno eriko omukono gwa Rajesh Chaplot, nga mubalirizi wa bitabo alaajanidde gavumenti ekkirize eggye eggwanga lya India ku mutendera gw’amawanga agakoseddwa nnyo ekirwadde kino, balizze ku mangu agali yadde yadde.
Kinajjukirwa nti mu mwezi gwa May, gavumenti yawera entambula zonna ez’e Buyindi olw’ekika ky’akawuka ka COVID-19 akapya akaali kazuuliddwayo.
“Ennyonyi ezisaabaza abantu wakati wa Uganda ne Buyindi zongezeddwayo. Tewali muntu ava Buyindi ajja kukkirizibwa mu Uganda.” Minisita Jane Ruth Aceng bwe yagamba.
Wabula ku kino, Rajesh agamba kikyamu okugaana abayindi okuyingira mu Uganda ate ng’abantu abalala okuva e Bungereza nayo ekirwadde gye kiri ekyamaanyi, bakkirizibwa.
Rajesh annyonnyola nti mu kiseera kino Bungereza erina abantu bangi abakwatibwa ekirwadde buli lunaku okusinga Buyindi.
Okusinziira ku Rajesh, Bungereza efuna abalwadde 402 buli lunaku ku buli kakadde k’abantu ate Buyindi erinako 29 bokka.
Omuyindi ono Rajesh agasseeko nti omuwendo gw’abakwatibwa e Buyindi gwali mungi mu kusooka naye kati embeera yatereera era tewali nsonga lwaki gavumenti egenda mu maaso n’okubateekako obukwakkulizo.
Ono alaze okunyolwa olwa bannayuganda okutambula kyere mu Buyindi naye ate eno mu Uganda bakyagenda mu maaso n’okubasosola.
Asabye abo abagemeddwa emirundi ebiri bakkirizibwe okudda mu Uganda basobole okutambuza emirimu gyabwe.
“Abayindi ababeera kuno bagatta ebitundu 60 ku buli 100 ku by’enfuna by’eggwanga. Mu mutima guno mwe tusabira gavumenti ekkirize abayindi abakyali mu Buyindi abafuna obutuuze nabo abakolera kuno okuddamu okutambuza emirimu gyabw.” Rajesh bw’agasseeko.
Rajesh agamba nti amakampuni agawerako agakozesa abayindi mu Uganda gakalubizibwa okutambuza obulungi emirimu gyago, ekintu ekireesewo okufiirizibwa.









