
Bya Ssemakula John
Kampala
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abayimbi okwewala okukozesa olulimi olwesittaza mu nnyimba zabwe.
Owek. Nsibirwa bino abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne bannabitone omuli abayimbi ne bannakatemba mu Kampala okuyita mu kivvulu ki ‘Pride of the Pearl Concert’ okutumbula obuwangwa n’ennono.
Omuwanika Waggwa ategeezezza nti Abavubuka abatumbula olulimu Oluganda nga bakozesa ebivuga ebinnansi, ate ne basengeka bulungi ebigambo mu nnyimba zaabwe, zizimba, ziwa obubaka obulungi, zikulaakulaanya ate zisanyusa era zinyumira abantu bonna awatali kwessittaza.

Waggwa abeebazizza olw’okukuba obulungi ebivuga n’agamba nti bano kyakulabirako kirungi eri abayimbi abalala.
Abayimba okuli Halima Namakula, Nakinku mu katemba Alex Mukulu n’abalala balaze obwenyamivu nti abayimbi b’ebiseera bino batunuulira kimu kya nsimbi so ssi mulamwa gwebayimbako.
Abakulembeddemu enteekateeka eno Jonathan Kayongo agamba nti baagala abavujjirizi abasobola okubayambako mu mulimu guno.
Ekivvulu kino kyategekeddwa Ssewa Ssewa, Kenneth Mugabi ne Myco Ouma nga kyetabiddwako abayimbi ab’enjawulo okuli Halima Namakula, Bebe Cool n’balala bangi.