Musasi waffe
Abaweereza mu Bwakabaka bwa Buganda olwa leero basomeseddwa ku bikwata ku kirwadde kya coronavirus wamu n’okuweebwa ebintu ebyenjawulo okusobola okikirwanyisa.
Bwabadde akwasa omukungu Josephine Nantege Ssemanda omuwandiisi w’enkalakalira mu woofiisi ya Katikkiro, minisita akola ku by’obulamu mu Bwakabaka Dr prosperous Nakindu Kavuma asabaye abakozi okussa munkola ebyo byonna ebibasomeseddwa.
Olwaleero abakozi b’Obwakabaka bakomyewo ku mirimu oluvanyuma lw’emyezi kyenkana esatu, oluvannyuma lw’omuggalo ogwateekebwa ku ggwanga olw’okwetangira ekirwadde kya coronavirus.
“Abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka bakomyewo nga balamu; mwebale okwerabirira. Njagala okwebaza enteekateeka eno etuleetedde okufuna ebintu ebisobola okutukuumira ku Bulange nga tuli balamu. Kyembakubiriza ebintu bino tebikoma ku mirimu wokka naye newaka mu biteekeyo,” Oweek. Nankindu Kavuma bwategeezezza.
Ono yakubirizza abakozi okubeera eky’okulabirako eri abantu abalala yonna gyebabeera.
Nakindu era asabye abantu okuvumirira abo bonna abasaasaanya amawulire amakyamu nti COVID-19 taliiyo.
“Ekyokuba nti oli mulamu tekitegeeza nti obulwadde tebuliiyo,” Nankindu bwegambye.
Mu bintu ebyamukwasizza kubaddeko mask z’Obwakabaka, obuuma obukebera ebbugumu nga buno bugenda kubeera kumiryango egiyingira Bulange, sanitizer, liquid soap, bu tank bwa mazzi nebintu ebirala bingi.
Ate ye omusawo Mugabi akola muddwaliro e Lubaga eyasomesezza abakozi yategeezezza nti obulwadde bwa kolona weebuli naye ekyewunyisa waliyo abantu abatamanyi busasaana butya.
“Obulwadde buno tubufuna singa omuntu akolola, oba ayasimula byaba ayasimudde naawe n’obussa. Wewala okwekwata mu kamwa, ennyindo, n’amaaso y’engeri obulwadde geybujja okusobola okubyetangira,” Mugabi bweyategeezezza.
“Obulwadde weebuli era abantu ababulina beeyongera, naye tusobola okubulwanyisa.”