Bya Ssemakula John
Makindye – Kyaddondo
Abamu ku bawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) abavunaanibwa mu kkooti y’ amagye e Makindye batabukidde omulamuzi wa kkooti eno nga bagamba nti asusse okubakandaaliriza mu kkomera wadde nga ekituufu akimanyi nti tebalina musango.
Kkooti eno ebadde eyebbugumu ennyo etandise ku ssaawa 6 ez’emisana nga ekulembeddwamu ssentebe waayo Brig Gen Robert Freeman Mugabe era ebadde erina okuwulira obujulizi bw’oludda oluwaabi ku misango gy’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye.
Omuwaabi wa gavumenti Gift Mubehamwe asoose kutegeeza kkooti nti omujulizi gwebabadde balina okuleeta alumirize bano tasobodde kulabikako olw’obuvunaanyizibwa obulala bw’abadde nabwo.
Wano Mubehamwe asabye kkooti eyongereyo omusango guno, kino kitabudde bannamateeka babavunaanibwa nga bakulembeddwamu George Musisi nategeeza nti oludda oluwaabi lususse okwebulankanya ekiremesezza abantu babwe okufuna obwenkanya.
Munnamateeka Musisi era abuulidde kkooti ku nsala ya kkooti etaputa ssemateeka eyayimiriza kkooti y’amagye okuwozesa abantu baabulijjo mu kkooti eno kubanga terina buyinza.
Ku nsonga eno, ssentebe wa kkooti eno, Brig. Freeman Mugabe annyonnyodde nti bakyalinda okuwabulwa kwa Ssaabawolerea awamu nebinaava mukujulira gavumenti kweyakola.
Omu ku basibe bano, Salim Sanya awanise omukono okubaako byategeeza omulamuzi kyokka omukisa bwegumummiddwa natabukira abalamuzi ba kkooti eno nategeeza nti tebaweereddwa bwenkanya kuba ekibavunaanwa kuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Ono agaanye okusirika era omulamuzi nalagira bamufulumye era wano omulamuzi kkooti agyongezaayo okutuuka nga February 21 wabula nalabula abasibe abalala ku muntu yenna anagezaako okutaataaganya kkooti eno.
Munnamateeka George Musisi n’abamu ku banna NUP banenyezza kkooti eno olw’okukandaaliriza abantu babwe awamu n’okulemerako okuwozesa abantu babwe wadde kkooti etaputa Ssemateeka yalaga nti terina buyinza kuwozesa bantu ba bulijjo.