
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita wa Kabinenti, Olukiiko n’Ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba asoomoozezza abalyolyomi abaludde nga boogerera Obwakabaka ebisongovu okufuna ku nsonyi beetondere Nnamulondo oba sikyo baboolebwe.
Minisita Kiyimba agamba nti bano balina okukimanya nti Obuganda tebusobola kubasonyiwa singa tebavaayo nebeenenya.
Okulabula kuno Minisita Kiyimba akuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 5 n’omusobyo okuva mu bantu ba Beene ab’Eggombolola ya Mutuba 16 Lwankoni mu Buddu, Mutuba 9 Kabira mu Busiro saako ne bammeeya ba Ttawuni Kkanso ye Katabi, Kakiri ne Namayumba mu Busiro.
Owek. Kiyimba agamba nti abantu bano bamanyiddwa era baludde nga bavvoola n’okutyoboola Obuganda nga tekikola makulu okubaleka okuyinaayina nga baweebuula Nnamulondo ebitagambika okuggyako nga Nnyinimu asiimye naabawa ekisonyiwo.
Wano Owek. Kiyimba ajjukizza abakulembeze mu Bwwkabaka okufaayo batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe kiyambe okulambika abantu ba Beene basobole okwettanira enteekateeka za Buganda ezibatwala mu maaso ng’ Emmwaanyi Terimba n’endala.
Bano Owek. Kiyimba abakubirizza okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya era beekuume amakubo agayitamu ekirwadde kino era bwekityo abakwatibwa edda bafeeyo okumira eddagala era banywerere ku biragiro by’abasawo.
Owek. Kiyimba era asabye abazadde okusomesa abaana baabwe okusobola okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso saako n’okubawa omwagaanya okubeera ab’omugaso muggwanga lyabwe.
Mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza bammeeya abakiise embuga olwa leero olwokubeera eky’okulabirako ekirungi bwatyo naabasaba okukubiriza bannabwe okwettanira okukiika embuga bamanye ensonga.
Bammeeya bano baweze okukunga banaabwe abalala abatalabiseeko olwaleero okwetaba mu luwalo omwaka ogujja.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abakulembeze abenjawulo ku mitendera egy’enjawulo n’abantu ba bulijjo.









