Bya Samuel Stuart Jjingo
Bbanda – Busiro

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga atongozza olukiiko lw’Abavubuka ba Buganda olutaasa obutondebwensi ng’asinziira mu Busiro ku Exodus College School ewategekeddwa omusomo ku butondebwensi eri abavubuka.
Kamalabyonna asinzidde wano n’akuutira abayizi okwewala obujjama betaase endwadde eziyinza okubalumba, abeewazizza n’okusuula kasasiro naddala obucupa buli webasanze. Wano alaze obweraliikirivu nti singa bino abaana tebabiyiga nga bato ate mu bukulu kibazibuwalira ne bamaliriza nga bonoonye obutonde.
Katikkiro asabye abayizi okubeera abegendereza mu bigenda ku bikwata ku bulamu bwabwe okuli; obutonde, ebyenjigiriza, ebyobulamu ebyenfuna n’ebirala kibayambeko okukulira mu bulamu obweyagaza.
Owek. Mayiga alaze obukulu bw’obutondebwensi eri obuwangwa n’ennono era ekyokulabirako awadde kya bika bya Baganda, bwannyonnyodde nti Ebika byonna bikwatibwako ensonga y’obutonde kubanga abantu beddira ebimera, ebisolo, eby’ennyanja n’ebirala. Wano w’asabidde abantu okumanya enkizo ey’obutondebwensi.
“Akaveera kamala emyaka kumpi 500, okukutukakutuka, Obwakabaka bwa Buganda bumaze emyaka kumpi 50, singa abaatusookawo baali baamansa obucupa oba obuveera singa tusanga ebizibu bingi n’obutonde kati” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro agamba nti Obwakabaka, nga buyita mu nteekateeka yabwo eya ‘akacupa nazo ssente’, bukoowoola abantu bonna okujjumbira omulamwa guno okutaasa obutonde ate n’okunoga ensimbi. Wano asabye abavubuka okukwata omuli gw’okutaasa n’okukuuma obutonde basobole okuteekateeka Buganda ne Uganda ey’enkya nga yeyagaza.
Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek. Mariam Mayanja Nkalubo ategezeeza abantu bonna nti Obwakabaka bukubiriza abantu okusimba emiti naddala egy’ebibala nga gino giyambako okufuna emmere eriibwa awaka ne mu masomero ate n’okutaasa obutonde. Ono era akubirizza abayizi okujjumbira enteekateeka y’Obwakabaka eya “akacupa nazo ssente” egendereddwamu okukungaanya obucupa ate bukolebwemu ebintu eby’enjawulo eby’omugasso okuli awakungazibwa kasasiro.

Omwami w’essaza Busiro Ssebwana Oweek. Charles Kiberu Kisiriiza asiimye nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa omukisa okukuza olunaku lwa Butondebwensi kubanga lubayambyeko okubunyisa obubaka obukwata ku butonde.
Omutandisi w’essomero lino, Mw. William Wasswa yeebaziza Obwakabaka olw’okuwa essomero lye omukisa okutegeka omusomo gw’okubangula abayizi mu nsonga za Butondebwansi, era yebazizza n’Obwakabaka olw’okukulemberamu enteekateeka z’enkulakulaana mu ggwanga nga buyita mu by’enjigiriza, okukubiriza abantu okukuuma obutondebwensi era wano w’asabidde abayizi okwenyigira obutereevu mu nteekateeka ezitaasa obutondebwensi.
Abayizi baweereddwa emisomo egy’enjawulo ku kukuuma obutondebwensi okuva mu bakugu mu bitongole nga NEMA, SSEF Uganda, Nature in Mind awamu n’ebitontome okuva mu bayizi mu masomero ag’enjawulo.
Omukolo guno gwetabiddwako; Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssalongo Omwami w’essaza Busiro Ssebwana Owek. Charles Kiberu Kisiroiza, Omwami w’eggombolola Mumyuka Wakiso Mw. Achilles Mukiibi, abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna n’abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo okubadde St. Augustine College, Wakiso, Mirembe SS, Exodus College School, Mengo SS n’amalala.
