Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Kasule Lumumba, asabye abavubuka okutwala omugenzi Al- Hajji Nasser Ntege Sebaggala ng’ekyokulabirako kibayambe okwekkiririzaamu wamu n’okuggyayo obusobozi bwabwe.
Lumumba ategeezezza bannamawulire ku Ssande ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala, nga Sebaggala bw’abadde omusajja eyeerandiza yekka mu bukozi era ng’abadde akola emikwano okwetooloola ebitundu ebyenjawulo.
Al-Hajji Nasser Ntege Sebaggala yafudde ku Lwomukaaga ku makya mu ddwaliro lya International Hospital of Kampala (IHK) oluvannyuma lw’okugwa mu kinaabiro wamu n’okusangibwa ng’alina ekizibu mu lubuto.
“Nkubiriza abavubuka okumulabirako era mwekkiririzeemu kibayambe okubaako bye mutuukako.” Lumumba bw’ategeezezza.
Lumumba asinzidde mu lukung’aana luno n’akiggumiza ng’akakiiko k’ebyamateeka bwe kali mu kutunula mu nsonga za vvulugu eyali mu kamyufu mu bitundu ebyenjawulo wamu n’okwemulugunya. Akakasizzaa ng’abaavaako emivuyo gino bwe bagenda okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Ku kalulu ka Mawogola South ne North, Lumumba ategeezezza nga bwe bazzeemu okukongerayo okutuusa nga 30/09/2020 kiyambe okwekenneenya enteekateeka y’okulaba nga kalondebwa mu mazima era mu bwenkanya.
“Akalulu kayongeddwayo kiyambe, abeesimbyewo, abalonzi n’abalondesa okwetegeka obulungi, tuleme kuddamu kufuna kutiisibwatiisibwa ng’okwaliwo mu kusooka.” Lumumba bw’agambye.
Akulira ebyamateeka mu NRM, Oscar Kihika naye asinzidde mu lukung’aana lwe lumu n’alaga we batuuse mu kutunula mu kwemulugunya kwa bannakibiina era n’ategeeza nti okutandika ne Mmande nga 26 okutuuka nga 4/09/2020, bagenda kutandika kuyita abeemulugunya mu buntu basobole okuttaanya ku ebyo bye beemulugunyaako.
Kihika alambuludde nga bwe baliko okwemulugunya okuwerako kwe baamaze edda okugonjoola era n’asuubiza okuwa obwenkanya eri buli munnakibiina.