
Bya Ronald Mukasa
Lubaga – Kyaddondo
Abavubuka ba Buganda beeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’okulambika obulungi Obuganda bweyabadde abuwa obubaka nga bujjukira bwegiweze emyaka 31 bukya atikkirwa e Naggalabi.
Maasomoogi mu bubaka bwe nga 31/07/2024, yeebazizza Abavubuka olw’omukwano n’obuwulize eri Nnamulondo era n’abasaba omukwano ogwo gulagibwe mu ngeri ey’empisa n’obuntubulamu nga bwe kimanyiddwa okuva edda n’edda.
Abavubuka wano we basinzidde ne bawera okulwanirira ensonga za Buganda nga batambulira mu kulambika kwa Nnyinimu okw’okugoberera ennono, obuwangwa, empisa n’obumu basobole okunyweza Nnamulondo.
Abavubuka okuwera kuno bakukoledde ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba mu lukuŋŋaana lw’Abamawulire lwe batuuzizza ku Lwokutaano.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Sejjengo ayozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okutuuka ku matikkirage ag’omulundi ogwa 31 era nebamwebaza olw’okusiima emirimu gyebakolera embuga.
Kulw’ Abavubuka mu Buganda, ono aweze nti bakwongera okunyweza obumu okusobola okunyweza nokukuuma Nnamulondo ekiseera kyonna.
Omuk. Ssejjengo balambuludde ku bituukiddwa bukya Nnyinimu atuula ku Nnamulondo omuli okutumbula ebyenjigiriza, eby’obulamu enkulaakulana y’abantu nebirala, kyoka nebakinogaanya nti singa Buganda ewebwa enfuga eya Federo nga bweyayanirwa , Uganda yakwongera okuyitimuka.
Abavubuka bano basabye bannabwe okuteeka bannabyabufuzi kuninga okumanya webayimiridde kunfunga eya Federo nga eggwanga lyolekera okulonda kwa bonna okwa 2026.
Sejjengo era asabye Gavumenti eyimbule n’okwejeereza abavubuka bonna abakwatiibwa sabiiti ewedde mukwekalakaasa nga bawakanya obulyake n’obukenuzi nategeeza nti bano tebalina kikyamu kyonna kyebakola.
Ye amyuka Ssentebe w’ekibiina ekitaba abavubuka mu Buganda, Kavuma Derick asabye gavumenti okuwuliriza abasuubuzi wano muggwanga okusobola okutaasa ebyenfuna by’eggwanga ebikosebwa ennyo buli lwewabaawo embiranye wakati wa gavumenti nabasuubuzi.
Ate ye atwala ensonga z’Amawulire mu kibiina kino, Najeeb Nsubuga asinzidde wano naakubiriza abantu bonna mu Buganda okunyweza n’okutambulira ku bubaka bwa Beene obw’okunyweza n’okukuuma ennono.
Nsubuga akuutidde abavubuka bulijjo okuwangana n’okuwa abakulembeze ekitiibwa okusobola okuzza Buganda ku ntikko.









