Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Abakulembeze b’abavubuka mu Bwakabaka bwa Buganda ku mitendera egyenjawulo batandise okutendekebwa ekitongole ki United Nations Development Programmes ‘UNDP’ mu kukolagana ne Minisitule ya Bulungibwansi n’Obutondebwensi eya Buganda.

Omusomo guno gwa kuwa okumanya eri abavubuka ku kukuuma obutondebwensi naddala nga bayita mu kutaasa emiti egiriwo wamu n’okusimba emiggya, omusomo gutegekeddwa mu Bulange e Mmengo era nga gwa kumala ennaku 3.
Akulembera UNDP mu Uganda Muky. Nwanne Vwede Obahor asoose kulaga bavubuka ba Buganda obwenyamivu bw’alina ku mutima olw’ebibalo ebyafulumizibwa nga ebibira bya Uganda byagwa okuva ku bitundu 24 ku buli kikumi okudda ku bitundu 9 ku buli kikumi ky’agambye nti kissa buli kitonde ekiri ku nsi (abantu, ebisolo, ebimera n’ebirala) mu katyabaga.
Vwede alaze nti oluvannyuma lw’okwekenenya ebibalo ebizze bifulumizibwa balina ebiruubirirwa okuli; okuwagira okusimba emiti egiri eyo mu bukadde bubiri (2,000,000) naddala emiti ginnansangwa mu ggwanga lyonna, okwongera okuyweza enkola n’obukulembeze obw’ensinkirano obwenjawulo omuli ne Buganda, okuzimba egye ly’abavubuka abasobola okulwanirira obutondebwensi n’okwongera ettoffaali kw’ebyo ebikolebwa mu ku butaasa nga mu myezi egiyise basodde okutalaaga ebitundu ebitali bimu nga basomesa abavubuka.
Ono taleseeyo kwebaza Bwakabaka olw’okuwaayo ettaka mu ssaza Bulemeezi lya yiika 10 nga kino akinyonyodde nga eddala ery’enjawulo Buganda lye yalinnya mu kulafuubanira okuzzaawo obutondebwensi.
Ku lw’Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule amukiikiridde mu nteekateeka eno, ajjukiza abavubuka nti okukuuma obutonde buvunanyizibwa bwabwe bwe bagabana okuva ku bajjajjaabwe, nti nga nabo bwe baakuumanga obutonde edda ne mu mulembe guno bwe kirina okubeera. Bwatyo asanyukidde omusomo ogutegekeddwa eri abavubuka okubazuukusa n’okubajjukiza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Oweek. Mugumbule era asabye abavubuka okussa essira ku kukuuma ensi yaabwe nga ya kiragala kubanga bbo gy’emiti emito egiggumiza ekibira nga be basobolera ddala okukuuma ensi yabwe Buganda nga yakiragala, kasita bakola ebyo ebituufu ebirina okukolebwa ku butonde.
Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Aantu mu Bwakabaka, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja asabye abavubuka abeetabye mu musomo guno, okukuza emiti kuba oluyimba lw’okugisimba lwavaavo kati essira lya kulaba nga egisimbiddwa girabirwa bulungi gikule. Agamba nti abavubuka be bakola Buganda ey’enkya, ekitegeeza nti bwe banaalabirira obulungi ebigriimu bajja kuba beetegekedde Ensi eyeyagaza (Buganda). Bwatyo abakoowodde okukuuma obutonde nga tebalina kibakomako.

Omusomo guno ogukwanaganyiziddwa minisitule y’Obutondebwensi n’eyabavubuka mu Buganda nga bali wamu ne UNDP, gukuŋŋanyiza abakulembeze b’abavubuka okuva mu bibiina nga; Nkobazambogo, Nkerettanyi, Buganda Bumu, Akeezimbira n’ebirala wamu n’Olukiiko lw’Abavubuka ttabamiruka olwa Buganda Youth Council.









