Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Minisita w’Obwakabaka ow’abavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu asabye gavumenti ne Pulezidenti Museveni okuyimbula abavubuka abavundira mu makomera ng’abasinga baggyibwa mu bitundu bya Buganda.
Okusaba kuno Owek. Ssekabembe akukoledde mu Ttabamiruka w’olukiiko lw’abavubuka mu Buganda atudde mu Bulange e Mmengo leero ku Lwokutaano, okulaba engeri gye basobola okutumbulamu obuweereza.

“Mukama waffe Pulezidenti twagala okusaba n’obuwombeefu bungi nti bwe kuba kuteesa basooke bafulume mu makomera olwo tufune akakiiko akasobola okuddamu okugatta abantu tuwuliziganye ku nsonga zonna.” Owek. Ssekabembe bw’asabye.
Owek. Ssekabembe agamba nti eggwanga liri mu kiseera kya buyinike naye ate abakulembeze ebintu babiraba ng’ebyokusaaga era n’asiima abakulembeze b’abavubuka olw’okuyimirira n’abavubuka bannaabwe abatulugunyizibwa mu ggwanga.
Minisita Ssekabembe abavubuka abawadde entanda ku mitendera abakulembeze mwe balina okuyita omuli; okufuna ebifo, okusembeza abantu n’okuteesa nabo ate olwo batandike okubakolera. Owek. Ssekabembe annyonnyodde nti ekigendererwa ekikulu eky’obukulembeze kubeera kukyusa bantu awamu n’okubagondeza obulamu era kino kye balina okukolako.
Ono annyonnyodde nti mu lubimbi olw’okutumbula embeera z’abavubuka, buli omu alina olubimbi lw’alina okuggusa. Ssentebe wa Buganda Youth Council, Omuk. Baker Ssejjengo, ategeezezza nti enkya ya leero bakubiddwa enkata y’ebikozesebwa mu woofiisi z’enjawulo okuva ewa Mw. Ddungu David ne Keezimbira Isaac. Bino bigenda kuweebwa ebibiina by’abavubuka ebyenjawulo okuli; Akeezimbira, Nkobazambogo ne Nkerettanyi.
Ssejjengo annyonnyodde nti baagadde okutumbula emirimu gikolebwa mu ngeri ey’ekikugu okusobola okutuusa obuweereza wansi mu byalo era wano we bagenda okusinziira okubazimbamu ebibiina by’obwegassi ebisobola okusiga ensimbi. Abadde Sipiika w’olukiiko lw’abavubuka olwa Ttabamiruka era omubaka omulonde owa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunnya, asabye abavubuka banne okwekkiririzaamu nga tebafuddeeyo ku nsibuko yaabwe wabula bakulembeze okukola ennyo n’okwesiga Katonda.
Ssebunnya abalambise nti basobola okwekkiririzaamu ne kibasobozesa okukyusa ekifaananyi ky’Obwakabaka n’okubutaasa ku bantu abeenoonyeza ebyabwe.









