
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Mu kaweefube w’okutumbula empeereza y’emirimu mu Bwakabaka, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka Owek. Joseph Kawuki asisinkanye abateesiteesi b’emirimu mu masaza ga Buganda okubalambika ku ntambuza y’emirimu mw’abasibiridde entanda okutandikawo pulojekiti eziyingiza ensimbi mu masaza.
Bino bibadde ku mbuga enkulu Bulange Mengo Minisita Kawuki w’abalambikidde ku nkola y’emirimu ng’agamba bano bakulu nnyo era lwe lutindo lw’abaami ba Kabaka mu masaza okutambuza emirimu. Owek. Kawuki agamba nti mu mirimu bano gye balina okukola kuliko okuteekerateekera Obwakabaka era abakuutidde okulaba nga batandikawo pulojekiti ez’enjawulo ku ssaza ezivaamu ensimbi okuyimirizaawo essaza.

Bano babanguddwa ku kunyikiza obutume bw’omuteesiteesi w’emirimu mu ssaza era babanguddwa Omukwanaganya w’Emirimu Omukulu mu Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu Mw. Harris Lubega, Omukwanaganya w’Ensonga z’Abakozi mu Bwakabaka Muky. Josephine Namala nabalala.









