
Bya Musasi Waffe
Kampala
Abavuzi batakisi mu ppaaka enkadde basobeddwa oluvannyuma lw’abamu ku bamusigansimbi abaali bawaddeyo erimu ku ttaka lyabwe okuli ppaaka eno okulyeddiza olunaku lw’eggulo ku Ssande.
Bano abatannasanguzibwa mannya bagamba nti tebaagala takisi kukolera ku ttaka lyabwe era bwebatyo baasimyemu ebinnya n’okuteekamu emisanvu ku kimu ku bitundu ebikola ppaaka eno wakati mu bukuumi obwamaanyi okuva mu poliisi n’amagye.
Abamu ku baddeereva bano aboogeddeko ne Gambuuze bagamba nti tebamanyi kigenda kuddako era tebamanyi we bagenda kuzza ssiteegi zaabwe ne basaba gavumenti eteese n’abagagga bano basobole okusigaza emirimu.
“Tulina ttiimu erina okukola ku by’okwerinda bya ppaaka eno naye we twogerera tetumanyi gye bali kwe kugamba byonna bizibu.” Omu ku baddeereva bw’ategeezezza.
Akulira ekibiina ekitaba abatakisi ekya ‘Federation of Taxi Operators,’ Rashid Ssekindi ategeezezza Gambuuze ng’erimu ku ttaka lino bweririko bannyini lyo era nga bano bazze n’abasaveya ne batandika okupuntako ekitundu kyabwe.
Amyuka omwogezi w’ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA), Robert Kalumba annyonnyodde nti ekitongole kikola buli kimu okusasula bannannyini ttaka lino emirimu gy’abatakisi giddemu okutambula.
“Ppaaka terina gyeraga, tukola buli kimu era njagala okubakakasa nti ettaka ligenda kubaddira ne ppaaka terina gy’eraga.” Kalumba bw’alambuludde.
Abamu ku baddereeva bano bagezezaako okuddamu okukolera mu kifo kino ku kifuba wabula poliisi nebakwata nga era nebaggalirwa.
Kitegeerekese nti waliwo kkampuni 5 okuli; Lukyamuzi Investments Ltd, DKS Uganda Limited, Key and Ham Investments Limited, Ahabwe Transporters Distributors Limited ne Kabale Distributors Limited ezaawaabira KCCA omwaka oguwedde olw’okusalimbira ku ttaka lyazo wakati nga ppaaka eno egenda mu maaso n’okukolebwa.
Ppaaka eno ebadde yaakamala okuggulwawo mu mwezi oguwedde ogwa January 2022 oluvannyuma lw’okumala emyaka ebiri ng’ekolebwa era nga yaamalawo obuwumbi bwa ssiringi za Uganda 4 n’obukadde 300 bulamba.









