Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Abataka Abakulu ab’Obusolya bagabidde abantu emmere okubayambako okusobola ofuna eky’okulya mu kiseera eky’okusoomoozebwa kw’ebyenfuna okwajjawo olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyateeka eggwanga ku muggalo.
Abataka okuli; Muteesaasira (Ngo), Kasujja (Ngeye), Katikkiro wa Kalibbala (Nseenene), Omutaka Walusimbi n’Omutaka Kyaddondo, be badduukiridde bazzukulu baabwe ku mukolo ogubadde mu Bulange ku woofiisi z’ekika ky’effumbe ku Lwokutaano.
Jjajja Muteesaasira Namuyimba Tendo asiimye abataka olw’omutima omulungi era n’asaba n’abazzukulu abeesobola okuyambako bannaabwe abanyigibwa embeera eno.
“Toyinza kukuuma nnono nga gw’olagira muyala, olwaleero tutandise obuvunaanyizibwa buno era tusoose ne bazzukulu baffe okubawa eky’okulya naye ggwe naawe omuzzukulu alina obusobozi okutaasa munno kikole, kuba abaganda tuli nkobazambogo tweggya ffekka mu bunnya.” Jjajja Muteesaasira bw’agambye.
Abamu ku baganyuddwa mu nteekateeka eno kuliko; Aboogezi booku mikolo, aba Boodabooda, abasiige mu Masiro g’e Kasubi, n’abooza emmotoka era bano basiimye Empologoma olw’okusiima n’abagabula ng’ayita mu bajjajja ab’obusolya.
Kinajjukirwa nti Omutanda Ssaabasajja Kabaka ng’ayita mu musajja we, Omuk. Omar Mandela yasiima n’awa emmere okwali akawunga n’endala eri bajjajja ab’obusolya era nabo ne basalawo okudduukirira abazzukulu abeerya enkuta olw’ebyenfuna ebyatabuka.