
Bya URN
Ekiteeso kya palamenti okuyimiriza okussa munkola ebisomesebwa ebipya mu masomero ga sekendule giyite Curriculum kireeseewo akavuyo mu masomero abasomesa gyebabadde batendekebwa mu nkola empya. Palamenti ku lw’okubiri yayirimirizza kussa mu nkola kariculamu eno ng’egamba nti tewaabaddewo kwebuuza kumala eri bonna bekikwatako.
Minisita avunanyizibwa ku by’enjigiriza ebisookerwako Rosemary Ssenninde ku Lw’okubiri yayanjulira palamenti enkola empya wabula yasanga akaseera akazibu okumatiza ababaka nti eggwanga lyetaaga kariculamu empya. Omusasi wa URN bweyatuuseeko mu gamu ku masomero abasomesa gyebaabadde basomesebwa, abamu baabadde baagala kudda waka oluvanyuma lwekirangiriro kya palamenti.
Leonard Lwanga omusomesa ku Kyaddondo Secondary School e Matugga omu ku basomesa 2050 abaabadde basomesbwa kun kola eno ku ssomero lya Trinity College Nabbingo mu disitulikit y’e Wakiso District, yagambye abamu ku banne bwebaawulira nti plamenti enyimirizza enkola eno n’ebeddira ewaabwe.
Kyokka yategeezezza nti abakungu okuva mu kitongole ekiteekateeka ebyensoma, kiyite National Curriculum Development Center, babategeezezza nti ebyabadde mu palamenti byabadde tebiganda kukosa enteekateeka zaabwe n’akamu. Lwanga yagambye nti ensoma empya nnungi wabula nga palamenti bweyagambye, abaagireese baagipapidde. Abasomesa abali ku ssomero lino beewunyizza lwaki waliwo okukoonagana wakati wa palamenti ne minisitule y’ebyenjigiriza ng’tae bonna bakolera mu gavumenti y’emu.