Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi ekutte basajja baayo 3 abakola ogw’okunoonyereza ku misango gy’okudibaga omusango gwa munnansi wa Latvia Saulite Anda mwalumiririza Paasita Joseph Collins Twahirwa okumukaka omukwano awamu n’okumubbako ssente ze.
Abakwate kuliko; Sgt Doreen Oyera, Cpl Judith Akite ne constable Joyce Ayereget, nga bonna bakolera ku poliisi ya Jinja Road police.
Anda agamba Omusumba Joseph Collins Twahirwa ow’ekkanisa ya Epikaizo Ministries International esangibwa e Bugoloobi mu Kampala yamukaka omukwano.
Mu musango Anda gweyaguddewo ku kitebe ekinoonyereza ku buzzi bw’ emisango yategeezezza nti Twahirwa yamuyita ajje e Uganda era yatuukira mu makaage e Bugoloobi nga Decemba 12, 2022 era olwali okutuuka nawamba Paasipoot ye nnamba LV4336528.
Kuno yagattako okumubbako ssente ze ddoola 300 awamu ne Euro 400 (€400) wabula oluvannyuma yaweebwa amagezi aggulewo omusango ku poliisi ya Jinja Road era kyeyakola.
Bweyali ku poliisi ya Jinja Road, kigambibwa nti abapoliisi bakwatagana ne Twahirwa ne bamuddiza Paasipooti ye era nebamukaka okuteeka omukono ku mpapula ezaali ziraga nti ssente ze azimuddizza era nebamukaka okuggalawo omusango.
Akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli, Maj Tom Magamba yalagidde bano bakwatibwe era kati bali munda.
Era kyazuuliddwa nti abakwate beekobaana ne Twahirwa bakake Anda okufuluma Uganda mubwangu kuba Visa ye yali eggwaako nga January 16.
Oluvannyuma lw’okuyita mu bino byonna Maj. Magambo yasabye ekitongole ekiwa abagwira olukusa okubeera mu Uganda okwongera Anda ebbanga asobole okufuna obwenkanya era asobole okuwaayo obujulizi mu kkooti.
Amyuka omwogezi w’ekitebe kya bambega e Kibuli, Claire Nabakka akakasizza okukwatibwa kw’ abapoliisi bano nategeeza nti bakuvunaanibwa nga amateeka bwegalagira.
Nabakka agamba nti Paasita n’ abapoliisi bano bonna kati bali mabega wa mitayimbwa era mubwangu bagenda kubitebya.