Bya Stephen Kulubasi
Bulange -Mmengo
Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, akunze abantu ba Kabaka okwettanira ebibiina by’obwegassi kibasobozese okukulaakulana n’okuzza Buganda ku ntikko.
“Abantu okukulaakulana nga bwe twakulaakulana okuva edda okutuuka wano, kitwetaagisa okwegatta nga tulima, okukungula bye tulimye, okwegatta okutunda bye tulimye n’okubisuubula wamu n’okuteeka ssente mu by’obulimi n’obwegassi.” Owek. Kaawaase bw’agambye.
Bino Owek. Kaawaase abyogeredde mu Bulange e Mmengo ng’atongoza bboodi y’ebibiina by’obwegassi ku Lwokuna era n’akunga abantu okunyweza obumu n’okwegatta.
Owek. Kaawaase agambye nti ebibiina by’obwegassi byalina ebigendererwa ebirungi era byakolera abantu wonna era kati abantu balabye nti obwegassi bwetaagisa. Ono annyonnyodde nti obwetaavu nga obwokukola bbanka mu Buganda byonna bijja kusoboka nga beekutte ku bwegassi era kikulaakulanye abantu b’Omutanda.
Owek. Kigongo asabye abantu okwewala okuyingiza eby’obufuzi mu bibiina by’obwegassi kuba kino kiganyula abantu bonna era abakuutidde okubeera abeerufu ku mitendera gyonna.
Bwe yabadde ayogera ku nsonga eno, minisita wa Buganda ow’ettaka, obulimi, obulunzi n’obwegassi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, ategeezezza nti essira lyakussibwa nnyo ku kirime eky’emmwanyi kubanga kya mbala era abantu b’Omutanda babadde bajjumbidde. Akakiiko akalondeddwa kakulirwa Omuk. Dr. Benon Ssembajjwe.
Ssembajjwe yaweze okuweereza Kabaka awatali kumutiiririra. Olukiiko luno lutuulwako abakiise mu bitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo ebyekuusa ku kutumbula embeera z’abantu okuli; BUCADEF, BICUL, CBS PEWOSA, Mmwanyi Terimba n’ebibiina by’obwegassi binnansangwa nga West Mmengo ne Lubaga Cooperative Union.