Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Katikkiro w’ebyalo bya Ssaabasajja Kabaka, Omuk. Moses Luutu asabye abalimi bulijjo okwettanira ennima ey’omulembe kuba kizuuliddwa nti yesobola okubayamba okuganyulwa mu bulimi awamu n’okugatta omutindo kwebyo byebakola.
Okusaba kuno Omuk. Luutu akukoledde mu Lubiri lwa Kabaka e Mmengo bw’abadde atikkula Amakula okuva mu Bannabuddu leero ku Lwokusatu.
Luutu annyonnyodde nti kye kiseera bannayuganda okuva ku nnima eyedda nga lwebajja okusobola okufunamu ensimbi okuzigatta ku ky’okufuna eky’okulya basobole okulaakulana n’okukyuusa obulamu embeera zabwe ez’obulamu.
Bannabuddu bano abavudde mu ggombolola ya Mutuba 18 Kibinge ne Musaale Butenga bategeezezza nti babadde balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe buno okusobola okulaba nti mu mbiri z’Omutanda temuggwamu byakulya nga enkola bweyabeeranga.
Mu bugenyi buno bano babadde bakulembeddwamu kansala Isaac Lwanga asabye abantu ba Ssaabasajja okuba abakozi beegobeko obwavu era nawera okuwagira enteekateeka zonna ez’Obwakabaka.
Mu bintu ebireeteddwa embuga mubaddemu; Ente, emmere ey’ebika eby’enjawulo , ebibala , nebintu ebirala.