Bya Miiro Shafik
Mmengo – Bulange
Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu n’okugaba endagamuntu eri bannayuganda, ki National Identification and Registration Authority – NIRA, bakyaddeko Embuga okukwasa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga endagamuntu ye n’okumusaba okukunga Obuganda okunona endagamuntu.

Bw’awadde akwasibwa endagamuntu ye, Katikkiro agambye nti omuntu asaanye okubaako obulambe obw’endagamuntu bamutegeere nti munnayuganda, era enkola eno agyesigamizza ku ntuuma y’amannya mu Buganda nti ng’omwana azaaliddwa bw’atwalibwa eri Jjajja we n’aweebwa erinnya kw’ago agali mu lunyiriri lwabwe n’afunamu limu lyamutuuma era eno ye yali endagamuntu ya Abaganda, kikulu ne buli muntu okumanyisa mu Ggwanga lye.
Katikkiro awadde emigaso gy’endagamuntu okugeza; esabibwa abantu mu kuweebwa emirimu, okufuna passport ekozesebwa okutambula mu mawanga, ate kati wano mu East Africa endagamuntu ekutuusa buli wamu, n’ebirala era bino kwe yesigamye okukubiriza Bannayuganda bonna abaana, abakulu n’abakadde bonna okwewandiisa.
“Twongera okukubiriza Bannayuganda okwewandiisa okufuna Ndagamuntu, n’abaana tubawandiise ate nammwe abazza obuggya ezammwe, mugende muzinoone mu bifo ebirambikiddwa obulungi. Endagamuntu nkulu nnyo mu byonna bye tukola era ziyamba ne Gavumenti okumanya abantu n’okubateekerateekera obulungi” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga asinzidde wano n’abaako obubaka bw’asibirira Bannayuganda ku ntandikwa y’omwaka guno, “2026 abantu amagezi ge mbawa kwe kubeera abalamu n’okukuuma essuubi, bangi baagala okuzimba amayumba, okutandikawo emirimu n’emirala Kati bwe bitayitamu amaanyi nga gabaggwako, naye bw’obeera omulamu era n’obeera n’essuubi ebintu byonna ojja kubituukako” Mayiga.
Stephen Roberts Kasumba, avunaanyizibwa okulondoola ebikolebwa mu kitongole kya NIRA, y’akwasizza Katikkiro endagamuntu ye ku Bulange n’agamba nti mu Buganda abantu bajjumbidde nnyo okwewandiisa era obukadde 13.36 be bantu abazza buggya endagamuntu zaabwe, ate abantu obukadde mukaaga 6.15 baali tebeewandiisangako, abaana abato wansi w’emyaka 15 baali kumpi emitwalo egisoba mu nkaaga nabo baawandiisibwa.Ono
Ono annyonnyodde nti abantu abaakyusibwa okuva ku nkola enkadde okudda ku mpya baali obukadde 21 newankubadde wonna awamu baali obukadde 28.Kasumba asinzidde wano n’akoowoola abantu ba Buganda abazza obuggya endagamuntu zaabwe n’abo abeewandiisa obuggya okukima endagamuntu zaabwe mu bifo ebisoba mu 146 ebitegekeddwa okwetoloola Eggwanga lyonna.
Ono ayongedde n’okukubiriza abazadde okuwandiisa abaana baabwe okuviira ddala kw’abo abakazaalibwa kubanga kiyamba Gavumenti okuteekerateekera obulungi abantu Bannansi.









