Bya Gerald Mulindwa

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Abaami ba Kabaka n’Abamyuka baabwe abali mu Masaza ga Kabaka mu America ne Canada. Ensisinkano ebadde ku Omni Boston hotel.
Kamalabyonna abadde wamu ne Minisita Joseph Kawuki, Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, nga n’Omumyuka w’Omubaka wa Kabaka e Bungereza Janet Nabatta Mukiibi yetabye mu nsisinkano eno.
Katikkiro ajjukizza Abaami bano nti omulimu gwabwe omukulu kwe kuyunga abantu ba Kabaka n’ebifa mu Bwakabaka olwo baleme kuva ku mulamwa, era bano abasabye okusala amagezi bakozese obuyiiya batuuse ku bantu, ebigenda mu maaso mu bwakabaka. Agamba nti ekimu ku bitawanya abantu bwe butawa budde kugoberera bigenda mu maaso olwo ne beesanga nga boogera buli kyebasanze. N’olw’ekyo bbo nga Abaami ba Kabaka basaanye okukozesa ennyingo ya obuyiiya, n’obunyikivu nga baweereza Kabaka wabula babeere bavumu baleme kutiisibwatiisibwa.
Katikkiro yebazizza Abaami okuba abavumu, abagumiikiriza, n’okwagala abantu be bakoleramu nga tebabeeganyizza. Agambye nti omulimu gw’Omwami omutongole si kuyisa budde wabula kukola ekyo ekyamuteesa mu kifo ekyo. Anokoddeyo obuvunaanyizibwa bwe balina okukola okugeza; okukola fayiro z’ebiwandiiko, okutuuza enkiiko, okukola alipoota ziyambeko okunyweza entambuza y’emirimu gy’Ababaka abali ebweru wa Uganda.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, awadde alipoota emenyamenya engeri amasaza gye gakozeemu obuweereza obwessalira obusuubirwa mu Baami ba Kabaka. Ategeezezza Katikkiro nti Abantu ba Kabaka abawerako ku babeera ebunaayira balowooza nti bategeera nnyo ebikwata ku Kabaka, Obwakabaka ne Uganda okusinga abaami be n’abamuli ku lusegere, kyokka n’ayanjulira Katikkiro nti Abaami ba Kabaka banywevu era bafuba okwanganga embeera wakati mu bukkakkamu bw’atyo yebazizza Abaami ba Kabaka olw’okutuukiriza ebibasuubirwamu.
Mu bubaka bwe, Oweek. Henry Matovu Ndawula atwala Essaza New England, aloopedde Katikkiro nti buli mwezi ababaka ba North America basisinkana ne bateeseza wamu era n’ategeeza nti baasalawo Oweek. Abdul Aziz Ddamulira, omubaka wa Midwest America gwe baalonda okutuusa ettu lyabwe lye baasibira awamu.
Ababaka bano nga bayita mu Oweek Damulira, bebazizza Katikkiro olw’okulaga obuvumu mu myaka 12 gy’amaze nga Katikkiro, omubadde okusoomoozebwa okw’amaanyi wabula n’alwana bwezizingirire nga tatiiriridde Kabaka we okulaba nga atema empenda okubivuunuka.