• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Abantu ba Kabaka basabiddwa okujjumbira okwegemesa COVID-19

Gambuuze by Gambuuze
October 26, 2021
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Abantu ba Kabaka basabiddwa okujjumbira okwegemesa COVID-19
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abantu ba Kabaka okujjumbira okwegesa ekirwadde kya Ssennyiga Corona era bafube okulwanyisa endwadde endala omuli omusujja gw’ensiri ne Mukenenya ssaako okunyweza ekigambo buyonjo yonna gyebawangaalira.

“Lumiimamawuggwe azze naye bw’asanga nga mulina obuyonjo tuba tumugobye. Obujama buleeta endwadde nnyingi  naye ddala singa tweyonja ne Ssennyiga ono owaabulijjo tubeera tumugobye. Temweyibaala gyemuli, obulwadde bukyaliyo naye eyo gye butannaba kutuuka mukole abasawo bye batugamba okubwewala.” Owek. Mugumbule bw’agambye.

Okusaba kuno akukoledde mu Bulange -Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 31 okuva e Buweekula, Kyaggwe ne Busujju. Ono abadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga era ng’ayambiddwako Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki.
Owek. Mugumbule akunze abantu ba Kabaka okwegemesa nga balabira ku Ssaabasajja Kabaka ne Katikkiro kuba ekirwadde kino kyabulabe nnyo eri obulamu bwabwe.

Ono era asiimye abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna olw’okusitukiramu okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya awamu n’omusujja mu bitundu byabwe.

Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye bannabuweekula okusigala nga bakkakkamu kuba ensonga y’ebigambo ebikwatiddwa n’obwegendereza obusembayo era tewali nsonga erina kubeeraliikiriza.

Kino kiddiridde abaami ba Kabaka nga bakulembeddwa abaamasaza baloopedde Katikkiro ekizibu ky’ekibbattaka ekikudde ejjembe mu bitundu byabwe, ng’abantu bangi basenguddwa era tebalina we balaga.

Ate bannabuweekula bannyonnyodde nga bwe waliwo abantu ababuzaabuza abalala obutawa busuulu nga bagamba nti essaawa yonna ettaka lino liddayo mu Bunyoro.

Ku bakiise Embuga mubaddemu abavudde mu magombolola ag’enjawulo agakola amasaza gano omuli; Malangalanga-Kaggwe, Kakindu, Ssaabawaali- Butayunja,Mituba etaano-Nyenga, Mumyuka -Maanyi, Mutuba gumu- Kitenga, Musaale-Kiyuuni n’amalala .

Amasaza gano gonna gavuddemu Ouwalo lwa bukadde 31,155,000/= wamu n’ebirabo bye batonedde Nnyinimu mu nteekateeka y’okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist