
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Ebyamawulire, Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke akalaatidde abantu ba Buganda ne Uganda yonna okunnyikiza kaweefube w’okukuuma obutondebwensi nga agamba lwebajja okusobola okwewala enkyukakyuka y’obudde ekosa obulamu bwabwe. Owek. Kitooke agamba okwonoona obutondebwensi kyekiviiriddeko n’ebbugumu eriyitiridde n’omusana omungi oguvuddeko n’ebirime okufa ensimbi z’abantu nezitokomoka.
Owek. Kitooke wano wasinzidde n’asaba abantu okunyiikirira enteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okukuuma obutonde naddala enkola y’okusimba omuti gw’ekijjukizo ku mikolo nga ogw’okwanjula, okwabya ennyimbe n’emirala nga Ssaabasajja bweyaalagira. Okwogera bino Owek. Kitooke asinzidde ku mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange Mengo bwababadde akiikiridde Katikkiro mu kutikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Nnyinimu okuva mu masaza okuli Kyaggwe, Buddu ne Bulemeezi. Mu ngeri y’emu, akubirizza abalimi okubikka ensuku, okusima ebidiba by’amazzi g’okufukirira ebireme n’engeri endala eziyamba okutaasa ennimiro okufa mu biseera bino eby’omusana
Ate Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki akuutidde Abaami ba Kabaka okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka ne mu bitundu gyebawangaalira baleme kuburekera bakyala. Owek. Kawuki ategeezezza nti omuze gw’okusuulirira obuvunanyizibwa gusitunde enkundi mu baami era asabye ab’ebitongole by’Abaami mu Masaza n’eggombolola okubaga enteekateeka z’okumalawo omuze guno ng’ekiwundu tekinnasamba ddagala.
Abaami ba Kabaka bajjukiziddwa n’okukunga abantu ba Nnamunswa okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo nga wano basabiddwa okukubiriza abantu okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egigenda okubaayo ng’ennaku z’omwezi 6 omwezi ogujja
Akulembeddemu abakiise Embuga erav nga ye Mwami wa Kabaka amulamulirako essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu aloopye emivuyo egyetobese mu nsonga z’ettaka e Kyaggwe era nasaba Obwakabaka okubaako kyebukola butaase abantu ba Kabaka abakosebwa emivuyo gino.

Eggombolola ezikiise Embuga kuliko, Ssaabagabo Ngogwe ne Ssaabawaali Buyikwe okuva mu ssaza Kyaggwe, Ssaabagabo Nakaseke ne Mutuba II Katikamu okuva e Bulemeezi wamu ne Mutuba XVIII Kibinge okuva e Buddu nga zino zireese ensimbi ezisobye mu bukadde 51. Eggombolola Ssaabagabo Ngogwe y’esinze okuleeta ensimbi ennyingi mu zikiise Embuga olwaleero.