
Bya Ssemakula John
Mmengo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka baweereddwa amagezi okwetegekera okuddayo kw’abaana ku masomero nga beewala okujaajaamya ensimbi naddala mu biseera bye twolekedde ebyennaku enkulu.
Amagezi gano gabaweereddwa Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu bw’abadde atikkula Amakula okuva mu ggombolola ya Ssaabagabo Lufuka esangibwa mu Kyaddondo.
Omuk. Luutu abakubirizza okunyweza ennono y’okuleeta Amakula kubanga buvunaanyizibwa bwabwe era bakimanye nti buvunaanyizibwa bwabwe okuyimirizaawo embiri za Kabaka nga bayita mu kutwalayo Amakula.
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka amulamulirako eggombolola eno, Martia Kayijja aloopye embuga ebizibu ebibasoomooza okuli nnawookeera w’obwavu n’enguudo embi, ebibalemesezza okwekulaakulanya.
Mu Makula bano ge baleese mulimu; ebisolo, emmere, ebintu ebirala.









